Minister Nankabirwa yasiimye NCBA Bank eyatandikawo empaka za NCBA Golf Series

Minister Nankabirwa yasiimye NCBA Bank eyatandikawo empaka za NCBA Golf Series

Minista Ruth Nankabirwa yabadde aggalawo empaka zino ez’olunaku olumu nga zeetabiddwamu abazannyi 150 n’asubizza naye okufuuka omu ku bazannyi. Abaawangudde empaka za NCBA Series Amateur Golf. Abasajja – Emmanuel Wamala 43 points. Abakazi – Eva Lwanga 46. Kapiteeni wa Kiraabu ya golf eya Uganda Golf club yalaze nga bw’atanyigirwa mu nnoga bwe yawangudde empaka za

Minista Ruth Nankabirwa yabadde aggalawo empaka zino ez’olunaku olumu nga zeetabiddwamu abazannyi 150 n’asubizza naye okufuuka omu ku bazannyi.

Abaawangudde empaka za NCBA Series Amateur Golf.

Abasajja – Emmanuel Wamala 43 points.

Abakazi – Eva Lwanga 46.

Kapiteeni wa Kiraabu ya golf eya Uganda Golf club yalaze nga bw’atanyigirwa mu nnoga bwe yawangudde empaka za NCBA Bank Series ez’oluzannya olwomwenda  ezaazannyiddwa ku wiikendi e Kitante.

Omuzannyo guno gwakwasizza ne minisita w’amasannyalaze n’ebyobugagga eby’omu ttaka Ruth Nankabirwa ekinyegenyege n’asuubiza okutandika okuguzannya.

Nankabirwa yabadde aggalawo empaka zino ez’olunaku olumu nga zeetabiddwamu abazannyi 150.

Mmaza ebbanga nga bampita okuzannya golf naye naatera okubeegattako.Nsiimye NCBA Bank eyatandikawo empaka za NCBA Golf Series mubiseera by’omuggalo. Mu ngeri y’emu era nsaba abag golf muteeke ensimbi mu bizinensi ezitondeddwawo mu kusima amafuta e Hoima ‘’Nankabirwa bweyategeezezza’’.

Yasiimye aba golf okuddukirira essomero ly’abaana abanafu b’obwongo erya Noah’s Ark e Ntebe bwe baasonze obukadde 17 n’assubizq okubakwatirako ng’azimba effumbiro n’ebyoto ebitakozesa nku na mmanda.

Bbo abawanguzi Wamala ne Lwanga baayiseemu okuzannya fayinolo w’empaka egenda okubaawo mu December e Nairobi ku kisaawe kya Muthaiga Golf Course. Empaka zizannyibwa mu Kenya ,Tanzania ne Uganda.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *