FIFA eragidde El Merriekh esasule ebbanja lya Express FC.

FIFA eragidde El Merriekh esasule ebbanja lya Express FC.

Ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA kiragidde club ya El Merriekh egucangira mu liigi ya babinywera e Sudan, okusasula club ya Express mukwano gwabangi ensimbi ezasigalayo ku muzannyi gwe yabaguza Erik Kambale. Mu mwezi gwa August 2022, club ya Express yaguza club ya El Merriekh omuzannyi Erik Kambale ensimbi za doola 45000,  bwebakadde 160

Ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA kiragidde club ya El Merriekh egucangira mu liigi ya babinywera e Sudan, okusasula club ya Express mukwano gwabangi ensimbi ezasigalayo ku muzannyi gwe yabaguza Erik Kambale.

Mu mwezi gwa August 2022, club ya Express yaguza club ya El Merriekh omuzannyi Erik Kambale ensimbi za doola 45000,  bwebakadde 160 n’omusobyo, kyokka El Merriekh teyamalayo nsimbi ezo.

Erick Kambale yateeka omukono ku ndagaano ya myaka 3 ne club ya El Merriekh, era club ya Express yakkiriza okusooka okusasulwako ensimbi za doola 25,000 nga 20 August 2022, newasigalayo emitwalo 2 ezaalina okusasulwa nga 29 omwezi gwe gumu ekitaakolebwa.

FIFA eragidde El Merriekh okusasula Express ensimbi ezasigalayo emitwalo gya doola 2 mu bwangu ddala, ate bagatteko n’ensimbi 5000 ezisasanyiziddwa mu musango guno.

Mu kiseera kino Erik Kambale ali mu club ya Vipers eya Uganda Premier League, gye yegaseeko mu mwezi ogw’omwenda omwaka guno ku ndagaano ya myaka 2.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *