Aba baseball baweereddwa ebikozesebwa mu muzannyo.

Aba baseball baweereddwa ebikozesebwa mu muzannyo.

Ekibiina ekitwala omuzannyo gwa baseball ne Softball mu Uganda ekya Uganda Baseball and Softball Association kiyiiseemu kavvu wa bukadde 37 abaweereddwa mu bikozesebwa mu kuzannya omuzannyo gwa baseball. Mu bino mulimu emijoozi n’emiggo (bats) ssaako obupiira obuzannyibwa. Omumerika Mark Redd nga muwagizi nnyo wa muzannyo gwa baseball ye yajunye aba baseball.  Bwe baabadde babakwasa ebintu

Ekibiina ekitwala omuzannyo gwa baseball ne Softball mu Uganda ekya Uganda Baseball and Softball Association kiyiiseemu kavvu wa bukadde 37 abaweereddwa mu bikozesebwa mu kuzannya omuzannyo gwa baseball. Mu bino mulimu emijoozi n’emiggo (bats) ssaako obupiira obuzannyibwa. Omumerika Mark Redd nga muwagizi nnyo wa muzannyo gwa baseball ye yajunye aba baseball.

 Bwe baabadde babakwasa ebintu bino, Redd abakuutidde abazannyi okwolesa empisa ezikyasinze okuba ennungi mu muzanyo guno kibasobozese okufuuka abantu abeegombebwa mu biseera ebijja. Redd ebintu abibakwasirizza ku St. Peters SS e Nsambya .

Felix Okuye, omukulembeze w’ekibiina ekitwala baseball yeebazizza Redd olw’omutima omugabi n’agamba nti obuyambi buno bwakubataasa nnyo mu kiseera kino kuba ttiimu y’eggwanga yeetegekera ez’okusunsulamu abaneetaba mu z’ensi yonna omwezi ogujja.

“Obuyambi buno bujjidde mu kaseera akatuufu nga twetegekera ez’okusunsulamu era abazannyi bali mu mbeera nnungi nga kati obwongo baakubuteeka ku kuyitawo okwetaba mu mpaka zino,” Okuye bwe yagambye.

Uganda egenda kuttunka n’amawanga okuli; Kenya, Ghana, Botswana, ne South Afrika mu mpaka z’abali wansi w’emyaka 12, 15, ne 18 mu bakazi n’abasajja.

Uganda eri mu kyakubiri mu Afrika mu basinga okuzannya baseball ne softball ng’eddirira South Afrika ate mu nsi yonna ya 43.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *