OLUVANNYUMA lwa liigi ya Basketball enkulu mu ggwanga okusazibwamu olwa Corona, ttiimu zeekozeemu omulimu ne zitegeka empaka okukuumirako omutindo nga beetegekera sizoni ejja n’okujjuukirirako bazannyi bannaabwe abafiiridde mu muggalo. Okuva nga June 3, 2021 akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka ‘National Council of Sports (NCS)’ bwe kaalagira ‘FUBA’ okuyimiriza liigi ya Basketball nga yaakazannyibwako
OLUVANNYUMA lwa liigi ya Basketball enkulu mu ggwanga okusazibwamu olwa Corona, ttiimu zeekozeemu omulimu ne zitegeka empaka okukuumirako omutindo nga beetegekera sizoni ejja n’okujjuukirirako bazannyi bannaabwe abafiiridde mu muggalo.
Okuva nga June 3, 2021 akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka ‘National Council of Sports (NCS)’ bwe kaalagira ‘FUBA’ okuyimiriza liigi ya Basketball nga yaakazannyibwako ensiike 8, abazannyi n’okutuuka leero bali waka olwa sizoni okusazibwamu.
Leero (Lwamukaaga) Betway Powers emu ku ttiimu za ‘Super’ ekung’aanyizza endala ttaano okuli; UPDF Tomahawks, UCU Canons, Falcons, NamBlazers ne Takan Lokeris mu mpaka ezituumiddwa ‘The Invite Basketball Tournament’ ez’okumala wiiki ttaano ku YMCA e Wandegeya.
Allan Musoke akulira eby’emizannyo mu ttiimu ya Betway Powers Basketball Club agamba nti mu kissera kino nga liigi teriiwo, abazannyi bazze nnyo emabega, abalala babafuddeko, okuteekawo empaka zino kyakuyamba okuzuukusa ffoomu n’okukomyawo emitima gy’abo ababadde baweddemu essuubi.
“Ttiimu tuzigabanyizaamu ebibinja bibiri, buli Lwamukaaga tujja kuba n’ensiike bbiri, okumala wiiki ttaano, omuwanguzi waakuweebwa obukadde bubiri, owookubiri 1,500,000, owookusatu emitwalo 50 na buli ttiimu eyeetabyemu yaakuweebwa ssatifikeeti,” Musoke bwe yategeezezza.
Agattako nti empaka zino zaakujjuukirirako bannamuzannyo ababafuddeko mu bissera eby’omuggalo okuli; Hellen Kamukama(Makerere Sparks), Maria Nakayima(KCCA Leopards), Daniel Ogwang ne Micheal Samora (aba UPDF Tomahawks), Wilbrod Oketcho, Elliot Bagenda ne Manut Bol(aba Betway Powers) ne John Ssimbwa eyatandikawo ttiimu ya Falcon.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *