Aba basketball bayigga obukadde 380 nga beetegekera ez’ensi yonna

Aba basketball bayigga obukadde 380 nga beetegekera ez’ensi yonna

EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gwa Basketball mu ggwanga ‘Federation of Uganda Basketball Association (FUBA) kituula bufoofofo okufuna obukadde bwa Uganda 380 okwetaba mu z’okusunsulamu abaneetaba mu z’ensi yonna (2023 FIBA World Cup). ‘Silverbacks’ ttiimu y’eggwanga ey’abasajja y’erina okwetaba mu z’okusunsulamu zino (2021 FIBA World Cup qualifiers) wiiki ejja wakati wa November 26-28, 2021 mu ggwanga lya

EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gwa Basketball mu ggwanga ‘Federation of Uganda Basketball Association (FUBA) kituula bufoofofo okufuna obukadde bwa Uganda 380 okwetaba mu z’okusunsulamu abaneetaba mu z’ensi yonna (2023 FIBA World Cup).

‘Silverbacks’ ttiimu y’eggwanga ey’abasajja y’erina okwetaba mu z’okusunsulamu zino (2021 FIBA World Cup qualifiers) wiiki ejja wakati wa November 26-28, 2021 mu ggwanga lya Angola era ku wiikendi abazannyi b’awaka 12 beesozze enkambi ku Africa Bible University okutandika okutendekebwa wabula ng’ensimbi zibeekubya mpi.

Nasser Sserunjogi pulezidenti w’omuzannyo guno mu ggwanga agamba nti tebaagala kusubwa mukisa guno kuba omutindo abazannyi kwe bali gubasobozesa okwesogga ez’ensi yonna era ng’abakulembeze batandise okusala entotto okulaba butya bwe basobola okufuna ssente ezinaabayamba mu mpaka zino.

“Okukwata ekifo ekyomukaaga mu Africa kitegeeza Uganda tuli b’amaanyi mu muzannyo gwa Basketball. Guno gwe mukisa gwe tulina okwongera okukolerera ebyafaayo nga newankubadde eggwanga liri mu katuubagiro ka byansimbi, naye twatandise dda okwekuba ku bazirakisa wamu ne Gavumenti batudduukirire,” Sserunjogi bwe yategeezezza.

Mu z’okusunsulamu Uganda eggulawo ne Mali mu kibinja A, ezzeeko Nigeria n’oluvannyuma esembyeyo Cape Verde mu bbanga lya nnaku ssatu zokka (November 26-28, 2021).

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *