Aba ddigi battunka leero.

Aba ddigi battunka leero.

ABAWAGIZI b’omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga, leero (Ssande) lwe baddamu okufuna ku ssanyu lye bamaze emyaka esatu nga balikonga lusu olw’abavuzi ababadde beetemamu ebiwayi bibiri. Sizoni ssatu emabega ekiwayi kya MAU kibadde kivuganyiza Busiika n’ekya FMU nga kiddukanyiza kalenda yaakyo e Garuga, sizoni eno ebiwayi byombi byegasse era abawagizi beesunze omuwendo gwa ddigi ezisukka mu

ABAWAGIZI b’omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga, leero (Ssande) lwe baddamu okufuna ku ssanyu lye bamaze emyaka esatu nga balikonga lusu olw’abavuzi ababadde beetemamu ebiwayi bibiri.

Sizoni ssatu emabega ekiwayi kya MAU kibadde kivuganyiza Busiika n’ekya FMU nga kiddukanyiza kalenda yaakyo e Garuga, sizoni eno ebiwayi byombi byegasse era abawagizi beesunze omuwendo gwa ddigi ezisukka mu 80 basasula ku mulyango nga bamativu.

Baanabalenzi okuli; Stav Orland, Alon Orland, Fortune Ssentamu, Gift Ssebuguzi n’abalala ababuusa ddigi ne zibulira mu bbanga baakwekeesa ebyuma ebipya bye baayingizzaawo sizoni eno.

Abalala; Miguel Katende (MX 65), Mubarak Mayanja Ssenoga (MX 85), Akena Obote, Waleed Omar, Milton Akaaki, Jeremiah Mawanda (MX 125), Alestair Blick (MX 1), Kylan Wekesa, Wazir Omar, Jonathan Wejuli (MX 2), Micheal James Akena (MX masters).

Abakazi: Abigail Katende kyampiyoni wa MX 50 Pewee, Jamaila Makumbi kyampiyoni wa MX 50 senior, Rahma Nakacwa (MX 65), Shamirah Kateete(MX 85), Shadia Kateete (MX 125), Sharifah Kateete(MX 2), Rose Deedan Turinawe (MX Vets) bonna beewera.

Empaka zino zisitudde ne kyampiyoni wa Kenya mu mutendera gwa MX 65, Kigen Mutuma, azze yeewerera Miguel Katende ne Jonathan Katende.

Mu mbeera y’emu abavuzi b’emmotoka z’empaka 25 nabo b’azze beswanta okweraga eryani nga bagezesa ebyuma bye bagenda okukozesa mu mpaka za Mbarara City Rally eziggulawo kalenda y’emmotoka ku wiikendi ya February 11 ne 12 mu kibuga Mbarara.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *