Aba Liverpool bakaabira Arnold.

Aba Liverpool bakaabira Arnold.

Omutendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp asattira lwa buvune bwa ssita we Alexander Trent Arnold. Omuzannyi ono yazannyeeko eddakiika 45 bwe baabadde bawangula Burnley ggoolo 3-1. Kigambibwa nti evviivi eryamusubya emipiira esatu gye buvuddeko, lye yazzeemu ne lirwala. Klopp yategeezezza nti bagenda kwekebejja omuzannyi ono okulaba ebbanga ly’anaamala ku ndiri. Liverpool erina emipiira emizibu mu kiseera

Omutendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp asattira lwa buvune bwa ssita we Alexander Trent Arnold.

Omuzannyi ono yazannyeeko eddakiika 45 bwe baabadde bawangula Burnley ggoolo 3-1. Kigambibwa nti evviivi eryamusubya emipiira esatu gye buvuddeko, lye yazzeemu ne lirwala.

Klopp yategeezezza nti bagenda kwekebejja omuzannyi ono okulaba ebbanga ly’anaamala ku ndiri. Liverpool erina emipiira emizibu mu kiseera kino nga yeetaaga buli muzannyi waayo okubeerawo.

Bakulembedde Premier, bali ku fayinolo ya Carabao Cup nga baakuttunka ne Chelsea sso nga mu FA Cup ne Europa League bakyavuganya.

Ng’oggyeeko obuvune bwa Arnold, Mohamed Salah, Alisson Becker n’abazannyi abalala bakyali balwadde.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *