ABAZANNYI b’e Namugongo baayolesezza ejjoogo ku ba Old Kampala be baasisinkanye ku mitendera egya fayinolo egy’enjawulo mu mipiira gy’abaana nga yonna babakubirayo. Bano baabadde mu mpaka za Edgars Childrens League’ ez’omulundi ogwomwenda ku kisaawe ky’essomero lya Aga Khan. Zeetabiddwaamu abaana abaazannyidde mu mitendera okwabadde abatasussa myaka 5, 7, 9, 11, 13, 15 ne 17. “Tutegeka empaka
ABAZANNYI b’e Namugongo baayolesezza ejjoogo ku ba Old Kampala be baasisinkanye ku mitendera egya fayinolo egy’enjawulo mu mipiira gy’abaana nga yonna babakubirayo.
Bano baabadde mu mpaka za Edgars Childrens League’ ez’omulundi ogwomwenda ku kisaawe ky’essomero lya Aga Khan. Zeetabiddwaamu abaana abaazannyidde mu mitendera okwabadde abatasussa myaka 5, 7, 9, 11, 13, 15 ne 17.
“Tutegeka empaka zino okulaba omutindo gw’abaana be tutendeka we babeera batuuse mu kuzannya omupiira, n’okugatta bazadde baabwe mu ngeri y’okumanyagana,” Joel Cornerious Kivumbi omwogezi wa akademi bw’agamba.

Ku fayinolo y’abatasussa myaka (5), Namugongo yakubye Old Kampala (2-1), n’ebaddamu mu z’abali wansi w’emyaka musanvu, n’ebakuba (2-1) mu peneti oluvannyuma lw’okulemagana (3-3) mu 90, ssaako ggoolo 4-3 mu z’abatasusa myaka (9), nga namwo baasoose kulemaga (1-1).
Empaka zino zitegekebwa aba akademi Edgars Youth Programme, nga zeetabwamu abaana be batendekera ku bisaawe eby’enjawulo okuli ekya; Old Kampala SS, Aga Khan, Christ the King Bweya, Namugongo Girls P/S n’ekya Marie Golds e Nitinda.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *