Engule y’omuzannyi wa liigi yali yasemba okutegekebwa mu 2017. Vipers SC bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga eya ‘StarTimes Uganda Premier League’ beefuze olukalala lw’abazannyi n’abatendesi okunaalondebwako abasinze okukola obulungi sizoni ewedde. Ebirabo bino bibadde byakoma okutegekebwa mu 2017 wabula ku wiikendi, kkampuni ya Pilsner abamu ku bavujjirizi ba liigi ya ‘super’, bazzeemu okubitegeka era olukalala lw’abantu
Engule y’omuzannyi wa liigi yali yasemba okutegekebwa mu 2017.
Vipers SC bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga eya ‘StarTimes Uganda Premier League’ beefuze olukalala lw’abazannyi n’abatendesi okunaalondebwako abasinze okukola obulungi sizoni ewedde.
Ebirabo bino bibadde byakoma okutegekebwa mu 2017 wabula ku wiikendi, kkampuni ya Pilsner abamu ku bavujjirizi ba liigi ya ‘super’, bazzeemu okubitegeka era olukalala lw’abantu 16 be baasunsuddwaamu okuvuganya.
Omuzannyi wa sizoni kuliko;
Cesar Manzoki, Milton Kalisa (bombi ba Vipers), Muhammad Shaban (Onduparaka).
Baggoolokippa wa sizoni;
Richard Anyama (Arua Hill FC), Nafian Alionzi (URA FC) ne Fabien Mutombora (Vipers SC)
Abazibizi;
Halid Lwaliwa ne Livingstone Mulondo (bombi ba Vpers, Joseph Vvuni (Arua Hills).
Omuzannyi omuto;
Denis Otim (Express), Abdulahi Rashid Kawawa (Arua Hill), Emmanuel Jonan Okech (Onduparaka).
Abawuwuttanyi kuliko;
Marvin Youngman (Bright Stars), Bobosi Byaruhanga (Vipers), Siraje Ssentamu (Vipers SC).
Abateebi kuliko;
Cesar Manzoki (Vipers), Shaban Muhammad (Onduparaka), Yunus Ssentamu (Vipers).
Omutendesi wa sizoni;
Roberto Oliviera (Vipers), Alex Isabirye Musongola (BUL), Abbey Kikomeko (Busoga United).
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *