Abacuba balemesezza omupiira gwa IUEA ne Victoria okuzannyibwa.

Abacuba balemesezza omupiira gwa IUEA ne Victoria okuzannyibwa.

Ttiimu ya International University of East Africa (IUEA) etunudde ebikalu nga bagyokya kajjogijjogi w’ebibuuzo ebyagiremye okunnyonnyola oluvannyuma lw’okuzuulibwamu abacuba mukaaga nga babaleese okuzannya mu liigi ya yunivaasite. Ku Lwokubiri (May 10, 2022) omupiira gwa Pepsi University League mu kibinja A wakati wa IUEA ne Victoria University ku kisaawe e Kansanga gwalemereddwa okuzannyibwa olwa IUEA kusangibwa

Ttiimu ya International University of East Africa (IUEA) etunudde ebikalu nga bagyokya kajjogijjogi w’ebibuuzo ebyagiremye okunnyonnyola oluvannyuma lw’okuzuulibwamu abacuba mukaaga nga babaleese okuzannya mu liigi ya yunivaasite.

Ku Lwokubiri (May 10, 2022) omupiira gwa Pepsi University League mu kibinja A wakati wa IUEA ne Victoria University ku kisaawe e Kansanga gwalemereddwa okuzannyibwa olwa IUEA kusangibwa n’abazannyi nga ffeesi zaabwe tezifaanana n’abo abali ku kipande ky’abo abawandiisibwa okuzannya sizoni eno.

Kino okuzuulibwa kyaddiridde ddifiri Bashir Jjunju ng’ayambibwako Haziz Mugalu ne Emmanuel Tonny Ouni abaabadde balina okulamula omupiira guno okusooka okukebera abo abatuufu abalina okuzannya, kyokka baagenze okulaba ng’abali mu kisaawe ate ffeesi zaawukana n’ezo ezaasoose okulabikira ku lukalala.

Bakira obwedda ddifiri gw’amala okukebera nga ye mutuufu ate y’afuluma ebweru n’akyusa omujoozi olwo n’aguwa omucuba olwo ye (omuzannyi) n’atuula ebweru.

Ku bazannyi 17 abaalabikidde ku lukalala lwa IUEA, amannya agaawanyisiddwa kw’abaddeko; ggoolokippa Frank Ssenyonjo, Shane Ziga Kapingiri, Isaac Otto, Tito Tong Wol Rou, Mayuek Bol Kem ne Dickson Musimenta.

Arthur Mwozi, atwala eby’emizannyo ku IUEA era maneja wa ttiimu yagaanyi okubaako ky’ayogera ku ky’abazannyi wabula ne yeekwasa nti ekyalemesezza omupiira okuzannyibwa ky’ekisaawe butabeeramu layini zikyawula okuyambako ddifiri okugulamula obulungi.

“Omupiira teguzannyiddwa kuba twaluddewo okutereeza ekisaawe nga tuteekamu layini, kino tekyabadde kigenderere naye twalowoozezza nti abaddukanya liigi bajja kusindika omukozi ateekamu layini,” Mwozi bwe yeekwasizza.

Ttiimu zombi zaatuuse ku kisaawe wakati w’essaawa mukaaga n’omunaana kyokka ekisaawe nga tekiriimu layini, era zaaweze ssaawa 9:00 omupiira okutandika nga temuli wadde layini okutuusa ku 9:45 abazirakisa bwe baagezezzaako okuziteekamu naye ne balemererwa olw’obutabeera na bikozesebwa bimala.

Patrick Ssebuliba, akulira eby’emizannyo ku Victoria University yafulumye ekisaawe ng’awaga nti buno obubonero batutte bwa ku mukeeka anti ensobi tebadde yaabwe. “Kinnumye obutazannya mupiira guno kuba tubadde tugwetaamu ggoolo nga ttaano, naye tulinze akakiiko akakwasisa empisa kasalewo,” Ssebuliba bwe yategeezezza.

Anthony Tumwesigye maneja wa Pepsi University League yeetondedde abawagizi abaabadde bazze mu bungi era n’asuubiza nti balinze alipoota ya ddifiri, ensonga bazitwale mu akakiiko akakwasisa empisa okusalawo ku mupiira guno.

Ekibinja kino kikulembeddwa Kumi n’obubonero (4), UCU (4), Victoria ne IUEA tebalinaayo kabonero.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *