Abaddusi 26 baakukikirir  Uganda mu misinde egya World Cross Country.

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF) kirangiridde ttiimu y’abaddusi 26 abagenda okukiika mu misinde gy’ensi yonna egy’okwetooloola ebyalo egya World Cross Country Championships egy’omulundi ogwa 44. Emisinde gino gyakubeera mu kibuga Bathurst ekya Australia nga February 18. Okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga,

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF) kirangiridde ttiimu y’abaddusi 26 abagenda okukiika mu misinde gy’ensi yonna egy’okwetooloola ebyalo egya World Cross Country Championships egy’omulundi ogwa 44.

Emisinde gino gyakubeera mu kibuga Bathurst ekya Australia nga February 18.

Okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga, Dominic Otucet agamba nti ttiimu yaakukuba enkambi ku ssomero lya Trinity Bible College Kapchorwa okuyamba abaddusi okwetegeka ekimala wamu n’okukuuma emibiri gyabwe nga giri mu mbeera nnungi.

Yayongeddeko nti ekigendererwa kyabwe kwe kulaba nga ttiimu ebeera mu nkambi ennaku ezisoba mu 30 nga kino kijja kubawa ekifaananyi ekituufu ku ttiimu gye batwala.

 “Ttiimu gye tutwala egenda kuvuganya n’abaddusi abasinga obulungi mu nsi yonna. Ttiimu zaffe okuli ey’abasajja bakafulu wamu n’abakazi kwossa ne bamusaayimuto abasajja za maanyi. Twagala kulaba nga ttiimu y’abakazi bamusaayimuto batuuka ku mutindo ogwetaagisa,” Otucet bwe yategeezezza.

Ttiimu yaakubeera wansi w’omutendesi Benjamin Njia ne Francis Demayi era Njia mugumu nti ttiimu emuweereddwa erina obusobozi okuwangula emidaali.

“Ffe twawangula emisinde gino mu mutendera gw’abasajja mu mpaka eziwedde mu 2019. Ekigendererwa kyaffe kwe kulaba nga tuddamu okuwangula empaka zino,” Njia bwe yagambye.

 Empaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo ezaasembayo zaali mu kibuga Aarhus ekya Denmark nga Uganda yazivaamu n’emidaali mukaaga nga ku gyo ebiri gya zaabu, ebiri gya feeza ate ebiri gya kikomo nga yamalira mu kifo kyakusatu.

Abasajja bakafulu; Joshua Cheptegei, Jacob Kiplimo, Samuel Kibet, Isaac Kibet ne Martin Kiprotich

Abakazi bakafulu; Stella Chesang, Mercyline Chelangat, Rispa Cherop, Prisca Chesang, Doreen Chesang ne Annet Chelangat

Abasajja bamusaayimuto; Rogers Kibet, Kenneth Kiprop, Allan Kibet, Hosea Chemutai, Dan Kibet ne Silas Rotich.

 Abaddusi abakazi bamusaayimuto; Risper Cherop, Peace Chebet, Charity Cherop, Bentalin Yeko ne Felista Chekwemoi

Ttiimu y’akafubutuko; Abu Mayanja, Ronald Musagala, Knight Aciru ne  Linda Chebet

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *