Abakulira okubaka baweze eky’abazannyi okukyusa ttiimu ku bwereere.

Abakulira okubaka baweze eky’abazannyi okukyusa ttiimu ku bwereere.

Omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo, akakiiko akategeka liigi y’okubaka eya National Netball Super League kaweze enkola ya kiraabu okuggya abazannyi mu kiraabu endala awatali kuwaayo nsimbi mu katale k’okukyusakyusa abazannyi. Mu biseera ebiyise, kiraabu zibadde zipaasuulanga ebisale by’abazannyi okuva mu kiraabu endala ne bagendera ku bwereere nga kiraabu ezibazimbye tezirina kye zifunye. “Kye twagala ye

Omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo, akakiiko akategeka liigi y’okubaka eya National Netball Super League kaweze enkola ya kiraabu okuggya abazannyi mu kiraabu endala awatali kuwaayo nsimbi mu katale k’okukyusakyusa abazannyi.

Mu biseera ebiyise, kiraabu zibadde zipaasuulanga ebisale by’abazannyi okuva mu kiraabu endala ne bagendera ku bwereere nga kiraabu ezibazimbye tezirina kye zifunye.

“Kye twagala ye muzannyi ne kiraabu okuganyulwa mu nteekateeka eno. Toyinza kugamba nti kiraabu eggye omwana mu ssomero n’emutendeka okutuusa ku mutindo ate bw’atuuka okugenda n’etebaako ky’emufunamu. Ekyo kikyamu era tujja kukirwanyisa kuba liigi eno bw’eba yaakukula, erina okuvaamu enkola y’obutabaamu nsimbi,” Kakande bwe yategeezezza.

Omutendesi wa Mutlex, Nicholas Travor yategeezezza nti baasanyukidde enteekateeka eno era asuubira nti yaakugasa kiraabu n’abazannyi.

Mmanyi nga bwe tunaafuna ssente okuva mu bazannyi be tunaaba tutunze, tujja kuzeeyambisa okugula abazannyi abalala abapya,” Travor bwe yannyonnyodde.

Emipiira ena gye giggulawo liigi eno nga KCCA abakulembedde, baggulawo ne Busia Greater Lions, Police ettunke ne Prisons, UPDF ne UCU ate UgX Luwero ettunke ne Africa Renewal University ng’emipiira gyonna gyakubeera ku kisaawe ky’amakomera e Luzira amaka ga Prisons.

KCCA ekulembedde liigi n’obubonero 22 okuva mu mipiira 11, NIC yaakubiri n’obubonero 18 nga benkanya ne Prisons abali mu kyokusatu nga Makindye Weyonje yaakuna n’obubonero 16.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *