Abaliko obulemu bakwetaba mu mpaka z’okusitula obuzito.

Abaliko obulemu bakwetaba mu mpaka z’okusitula obuzito.

Abasituzi b’obuzito abaliko obulemu baakuttunka mu mpaka z’okusitula obuzito eza Para powerlifting Uganda Open ez’okubeerawo ng’ennaku z’omwezi 17 omwezi ogujja ogwa Febuary ku MTN Arena e Lugogo.Abazannyi abasoba mu 60 abaliko obulemu be basuubirwa okwetaba mu mpaka zino kyokka nga n’abataliiko bulemu bakkirizibwa okuzeetabamu wabula nga si baakufuna bubonero. Abawanguzi baakusitukira mu nsimbi wakati w’emitwalo

Abasituzi b’obuzito abaliko obulemu baakuttunka mu mpaka z’okusitula obuzito eza Para powerlifting Uganda Open ez’okubeerawo ng’ennaku z’omwezi 17 omwezi ogujja ogwa Febuary ku MTN Arena e Lugogo.
Abazannyi abasoba mu 60 abaliko obulemu be basuubirwa okwetaba mu mpaka zino kyokka nga n’abataliiko bulemu bakkirizibwa okuzeetabamu wabula nga si baakufuna bubonero.

Abawanguzi baakusitukira mu nsimbi wakati w’emitwalo 20 ne 15 wamu n’okuweebwa ebirabo eby’enjawulo.
Denis Mbaziira, omu ku basuubirwa okwetaba mu mpaka zino ategeezezza nti empaka zijjidde mu kiseera ekituufu nga ssaawa eno tebalina mpaka ze beetabamu wano awaka.
” Empaka zino mmanyi nga zijja kunnyamba okukuuma omubiri gwange nga guli fiiti okusobola okwetaba mu zaamaanyi eziri ebweru w’eggwanga,” Mbaziira bwe yannyonnyodde
Empaka zino zaakuyamba abazannyi okwetegekera empaka ez’enjawulo eziri ebweru w’eggwanga  ez’okuba

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *