Abasituzi b’obuzito bamusaayimuto beesunga za nsi yonna.

Abasituzi b’obuzito bamusaayimuto beesunga za nsi yonna.

Abasituzi b’obuzito bamusaayimuto beesunga za nsi yonna ezinaabeera e Mexico omwezi ogujja. Kiddiridde bano okuwangula emidaali gya zaabu mu mpaka za Afrika Youth and Junior Championships e Misiri gye buvuddeko. Shabra Mutesi ne Dan Tumukunde abayizi ku Kakungulu Memorial SS be baakiikiridde Uganda mu mpaka zino ezaamaze ennaku ttaano e Misiri. Mutesi owa S6 yawangudde

Abasituzi b’obuzito bamusaayimuto beesunga za nsi yonna ezinaabeera e Mexico omwezi

ogujja. Kiddiridde bano okuwangula emidaali gya zaabu mu mpaka za Afrika Youth and Junior Championships e Misiri gye buvuddeko.

Shabra Mutesi ne Dan Tumukunde abayizi ku Kakungulu Memorial SS be baakiikiridde Uganda mu mpaka zino ezaamaze ennaku ttaano e Misiri. Mutesi owa S6 yawangudde zaabu emu ne feeza bbiri ate Tumukunde n’awangula zaabu ssatu ne feeza ssatu.

“Nneesunga za nsi yonna era ng’enda kwongera amaanyi mu kutendekebwa nsobole okumegga owa Cameroon eyansinze kkiro ebbiri mu mpaka zino. Mmanyi nti nnina okutuula ebigezi bya S6 naye empaka we zinaatuukira nga biwedde,” Mutesi bwe yategeezezza.

Yasitudde omugatte gwa kkiro 144 ate Madeleine Jacquette Ndolo owa Cameroon n’asitula omugatte gwa kiro 146. Ate Tumukunde owa S5 mu ssomero lye limu yasitudde omugatte kkiro 220. Akulira Kakungulu Memorial, Haji Jamil Buwembo yategeezezza nti baakwongera okuwagira abayizi bano n’okutumbula omuzannyo mu bamusaayimuto mu masomero.

“Ffe tusoose okuteeka omuzannyo gw’okusitula obuzito mu masomero ga Uganda. Twakikola ku badminton (ttena y’ekyoya) kati amasomero mangi gaguzannya. Kino era kubadde kuddiza ku bantu kuba bangi ku bayizi bano baali bawanduse mu masomero lwa fiizi. Kati tulina abayizi 10 abasitula obuzito abasomera ku sikaala era nga ne ttiimu y’eggwanga twagiwa omukisa okutendekerwa mu jjiimu y’essomero,” Buwembo bwe yategeezezza.

“Essomero lyaffe ligabira sikaala abayizi abalina ebitone mu mizannyo egitali gimu era tuli ba kyampiyoni mu mizannyo mingi,” bwe yayongeddeko.

Yasiimye abazadde, Agnes Aliyinza (owa Mutesi) ne Reste Tumuhimbise (owa Tumukunde) olw’okubassaamu obwesige. Essomero lyonna lyayanirizza abayizi bano abajjidde mu mmotoka embikkule nga bawuubira ku bantu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *