Alexander Weizir Abavuzi ba ddigi okuva mu mawanga g’ebweru batandise okweyiwa ku kisaawe kya Extreme and Adventure Park e Busiika nga beeswanta okubbinkana ne Bannayuganda mu za bannamagye ku Ssande eno. Omumerika Alexander Weizir avuganyiza mu mutendera gwa MX 2 y’asoose okuyingirawo n’ageegeenya okwogera oluganda ng’atiisatiisa bannansi wabula abagwira abalala 22 okuva mu mawanga 15
Alexander Weizir
Abavuzi ba ddigi okuva mu mawanga g’ebweru batandise okweyiwa ku kisaawe kya Extreme and Adventure Park e Busiika nga beeswanta okubbinkana ne Bannayuganda mu za bannamagye ku Ssande eno.
Omumerika Alexander Weizir avuganyiza mu mutendera gwa MX 2 y’asoose okuyingirawo n’ageegeenya okwogera oluganda ng’atiisatiisa bannansi wabula abagwira abalala 22 okuva mu mawanga 15 basuubirwa okutuuka obutasukka Lwakusatu lwa wiiki eno.
Mu kutongoza empaka zino e Busiika, Nathan Amaral akuliddemu okutereeza amakubo ku kisaawe ky’e Busiika yategeezezza nga buli kimu bwe kiwedde, bongeddemu obusozi ppiki kwe zinaabuukira. Amakoona ag’omulembe kw’ossa okugaziya abawagizi gye babeera nga banyumirwa empaka byonna byawedde okuyooyoota.
Amawanga okuli; Canada, Amerika, Belgium, Spain, Girimaani, Bufalansa, Zambia, Zimbabwe, Kenya, Botswana, South Afrika, Tanzania, Swaziland, Turkey ne Bungereza be basuubirwa okuweereza abavuzi.
Bano baakuttunka ne Bannayuganda 100 wabula mu kiseera kino 85 be bamaze okukakasibwa okwetaba mu mpaka zino ez’omulundi ogwokubiri ezituumiddwa Armed Forces Motorcross Championship ezigendereddwaamu okuddiza bannamagye mu ggwanga.
Baakuvuganya mu mitendera okuli; MX 50 Pewee, MX 50 senior, MX 65, MX 85, MX 125, MX 1, MX 2, MX Vets ne MX Masters.
Okusinziira ku Peter Ndiwalana omu ku bategesi e Busiika yakakasizza nti omulundi guno, bannamagye bajja kubuusa ennyonyi ez’empaka mu bbanga n’okusabuuku ennyonyi ennwaanyi okumala essaawa nnamba mu bbanga.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *