Abavuzi be mmotoka z’empaka balwanirira ngule.

Abavuzi be mmotoka z’empaka balwanirira ngule.

Enkalu zeeyongedde ku ngule y’eggwanga (NRC) mu muzannyo gwa mmotoka z’empaka, ng’abavuzi basatu balwanirira kusuuza Ponsiano Lwakataka akulembedde n’obubonero 332 ngule. Kiddiridde kkooti okusingisa Lwakataka emisango ebiri okuli; ogw’okusaalimbira ku ttaka eritali lirye n’okwonoona ebintu e Mukono. Emisango gino gyakumulemesa okuvuga empaka ezisembayo, ekyawadde Jonas Kansiime ali mu kyokubiri ku ngule y’eggwanga n’obubonero 271.5 y’enjawulo

Enkalu zeeyongedde ku ngule y’eggwanga (NRC) mu muzannyo gwa mmotoka z’empaka, ng’abavuzi basatu balwanirira kusuuza Ponsiano Lwakataka akulembedde n’obubonero 332 ngule.

Kiddiridde kkooti okusingisa Lwakataka emisango ebiri okuli; ogw’okusaalimbira ku ttaka eritali lirye n’okwonoona ebintu e Mukono.

Emisango gino gyakumulemesa okuvuga empaka ezisembayo, ekyawadde Jonas Kansiime ali mu kyokubiri ku ngule y’eggwanga n’obubonero 271.5 y’enjawulo ya bubonero 60.5 essuubi okuwangula engule ye eya NRC eneeba esoose.

Ne Byron Rugomoka ali mu kyokusatu ku bubonero 254 ne Umar Dauda (248) nabo beesunga bwakyampiyoni ssinga bamalira mu bifo ebisava.

Empaka eziggalawo kalenda zaakuvugibwa ku wiikendi ya December 9 ne 11 mu Kigezi, Rukungiri ne Kisoro.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *