Abawagizi ba ManU bali ku bunkenke olw’omupiira gwabwe ne FC Copenhagen ogwa leero ku Old Trafford. Omupiira guno gwa Champions League nga ManU y’ekoobedde mu kibinja {A} nga singa tewangula, emikisa gyayo okuwanduka giba waggulu nnyo. ManU y’ekoobedde nga mu mipiira ebiri tefunyeemu kabonero sso nga Bayern erinaa 6, Galatasaray {4} ate Copenhagen {1}. Omutindo
Abawagizi ba ManU bali ku bunkenke olw’omupiira gwabwe ne FC Copenhagen ogwa leero ku Old Trafford.
Omupiira guno gwa Champions League nga ManU y’ekoobedde mu kibinja {A} nga singa tewangula, emikisa gyayo okuwanduka giba waggulu nnyo.
ManU y’ekoobedde nga mu mipiira ebiri tefunyeemu kabonero sso nga Bayern erinaa 6, Galatasaray {4} ate Copenhagen {1}.
Omutindo gwa ManU mubi sizoni eno wadde nga ku Lwomukaaga yakubye Sheffield United {2-1}.
Oluvannyuma lwa Bayern okubakuba {4-3] ne Galatasaray {3-2}, aba ManU balina okutya nti Copenhagen eya Denmark yadibadde mu biwundu okuva bwe balina abalwadde abangi okuli: Roberto Martinez, Rafael Varane, Wan Bissaka, Luke Shaw, Anthony Martial ssaako Casemiro ali ku kkoligo lya kaadi emmyuufu.
Wabula omuzibizi Sergio Reguilon yassuuse era ng’asuubirwa mu nnamba 3.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *