Abawagizi b’emizannyo abalwanira mu bisaawe bakusibwa emyaka 10.

Abawagizi b’emizannyo abalwanira mu bisaawe bakusibwa emyaka 10.

Abawagizi b’emizannyo egyenjawulo abenyigira mu kukyankalanya emizannyo omuli okulwanira mu bisaawe, okuwemula, okukasuka ebintu ebittakirizibwa mu bisaawe ebiremesa emizannyo okugenda mu maaso,obudde bubakeeredde bakusibwa emyaka 10 singa emisango ginaabakka muvvi. Bino birambikiddwa mu nnyingo eziyisiddwa parliament mu tteeka eppya erirungamya eby’emizannyo li Physical activities and sports bill 2022. Abawagizi bano  era bakusasulira byebonoonye wamu nokuliyirira

Abawagizi b’emizannyo egyenjawulo abenyigira mu kukyankalanya emizannyo omuli okulwanira mu bisaawe, okuwemula, okukasuka ebintu ebittakirizibwa mu bisaawe ebiremesa emizannyo okugenda mu maaso,obudde bubakeeredde bakusibwa emyaka 10 singa emisango ginaabakka muvvi.

Bino birambikiddwa mu nnyingo eziyisiddwa parliament mu tteeka eppya erirungamya eby’emizannyo li Physical activities and sports bill 2022.

Abawagizi bano  era bakusasulira byebonoonye wamu nokuliyirira abo bebatuusizaako obuvune.

Abantu abanaasingisibwa emisango gino, bakuwerebwa okutaddamu kwetaba yadde okulinnya mu bisaawe ebyenjawulo okumala ebbanga lya emyaka 3.

Ttiimu z’emizannyo ezinabapangisa abakyuba okuzizannyirq mu mizannyo egitali gimu nabo bakusibwa emyaka 10, oba okutanzibwa obukadde bwa shilling 10 oba okukola ebibonerezo byombi singa omusango gunaabakka muvvi.

Mu tteeka lino buli ssomero litereddwako obukwakulizo okubeera nebifo ewazannyirwa emizannyo egitali gimu, nga buli ssomero liragiddwa okubeera wakiri n’emizannyo egikkunukkiriza mu 15 egizannyibwa abayizi.

Akakiiko k’eggwanga akavunanyizibwa ku by’emizannyo ka National Council of Sports kakwasiddwa obuvunanyizibwa okugaba license eri bannabyamizannyo ,club z’emizannyo abagala okutandiikawo amatendekero gemizannyo eri abaana abato ezimanyiddwanga sports academies, wabula okuweebwa license balina okusembebwa federation oba ekibiina ekitwala omuzannyo gwebagwamu.

Omuntu yenna okuli omukozi mu ttimu y’emizannyo, ebibiina ebifuga emizannyo ,balifiri oba  abantu abalala bonna abalina akwate ku muzannyo gwonna, abaneenyigira mu kusiba akapapula nekigendererwa ekyokufuna ensimbi bakusibwa emyaka 10.

Omuntu yenna afuna amawulire agakwata ku munnabyamizannyo eyasibye akapapula ekimanyiddwanga match fixing ,amawulire ago nagasirikira natategeeza ebitongole ebikwatibwako ebyemizannyo, wakusibwa emyaka 5 singa omusango gunaamuka muvvi.

Omuntu yenna atawereddwa lukusa okuva eri federation anakwata ku butambi omuzannyo gwonna oguba gugenda mu maaso, nekigendererwa ekyokufuna ensimbi mwebyo byaba akutte wakuvaanibwa.

Ba agents b’abazannyi mu muzannyo egyenjawulo , ba manager bakwewandiisa mu federations era bakuweebwa license, saako abaneenyigira mu mulimu guno nga tebalina license  nabo etteeka lyakubakolako.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *