Abawagizi tebamatidde mukungu ManU gwe yalonze.

Abawagizi tebamatidde mukungu ManU gwe yalonze.

Okulondebwa kwa Omar Berrada ku kifo ky’akulira emirimu mu ManU kutemye mu bakungu n’abawagizi ba ttiimu eyo ng’abamu bagamba nti abadde tagwana kifo ekyo.  Berrada abadde akolera Man City nga y’akulira ttiimu eziri mu luse olumu nayo (Man City) mu nsi ez’enjawulo. Gye buvuddeko Man City bwe yawangula Premier, Berrada y’omu ku baasoomooza ManU ng’asinziira

Okulondebwa kwa Omar Berrada ku kifo ky’akulira emirimu mu ManU kutemye mu bakungu n’abawagizi ba ttiimu eyo ng’abamu bagamba nti abadde tagwana kifo ekyo.  Berrada abadde akolera Man City nga y’akulira ttiimu eziri mu luse olumu nayo (Man City) mu nsi ez’enjawulo.

Gye buvuddeko Man City bwe yawangula Premier, Berrada y’omu ku baasoomooza ManU ng’asinziira ku bbaasi eyali etambuza ekikopo mu kibuga Manchester n’ayeeya ManU nti yanafuwa n’efuuka lugoojamye.

Kino kyatanula abawagizi bangi n’abamu okumulaba nga omulabe wa ttiimu eno era bwe baamulonze, bangi baasiikuuse emmeeme. Obukulembeze bwa Jim Ratcliffe bugamba nti bwagala kuzza ManU ku ntikko eddemu evuganye ku bikopo nga bwe gwali edda.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *