Abawanguzi ba liigi y’okubaka batikkira nga 26 omwezi guno

Abawanguzi ba liigi y’okubaka batikkira nga 26 omwezi guno

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kikakasizza nga abawanguzi ba liigi y’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball league omwaka guno 2022 aba National Insurance Corporation (NIC) nga bwe bagenda okutikkirwa ng’ennaku z’omwezi 26 omwezi guno ogwa April. Okwawukanako n’emyaka egiwedde, ku mulundi guno baakutikkira abawanguzi mu bika ebyenjawulo mukaaga okuli; Omuzannyi asinze

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kikakasizza nga abawanguzi ba liigi y’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball league omwaka guno 2022 aba National Insurance Corporation (NIC) nga bwe bagenda okutikkirwa ng’ennaku z’omwezi 26 omwezi guno ogwa April.

Okwawukanako n’emyaka egiwedde, ku mulundi guno baakutikkira abawanguzi mu bika ebyenjawulo mukaaga okuli; Omuzannyi asinze banne, omutendesi asinze, ddiifiri asinze, ttiimu esinze, omuteebi asinze ne ttiimu esinziza empisa.

Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka, Sarah Babirye Kityo agamba nti ku mulundi guno baagadde bateekewo ekintu ekyenjawulo.

“Emyaka egiwedde babadde basiima ttiimu esinze okukola obulungi yokka naye ku mulundi guno n’abatawangudde balina ebirabo eby’okuwangula ng’emu ku ngeri y’okubazzaamu amaanyi,” Kityo bwe yategeezezza.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *