Abawuzi batandise okwetegekera empaka.

Abawuzi batandise okwetegekera empaka.

Ekibiina ekiddukanya  omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga (Uganda Swimming Federation) kitandise okwetegekera empaka z’obuvanjuba bwa Afirika eza Cana zone 3 Swimming Champions ez’okubeeramu Tanzania okuva nga November 17 – 20 Okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, bafulumizza olukalala lw’abawuzi abasoba mu 60 batandike okwetwegekera empaka zino. Pulezidenti wa Uganda Swimming Federeation, Moses Mwase ategeezezza ng’ekigendererwa kyabwe

Ekibiina ekiddukanya  omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga (Uganda Swimming Federation) kitandise okwetegekera empaka z’obuvanjuba bwa Afirika eza Cana zone 3 Swimming Champions ez’okubeeramu Tanzania okuva nga November 17 – 20

Okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, bafulumizza olukalala lw’abawuzi abasoba mu 60 batandike okwetwegekera empaka zino.

Pulezidenti wa Uganda Swimming Federeation, Moses Mwase ategeezezza ng’ekigendererwa kyabwe bwekiri mu kweddiza ekikopo kino kye baawangula omwaka oguwedde.

“Ttiimu gyetulonze tugyesiga era mmanyi bulungi nti abawauzi balina obusobozi obuwangula empaka z’omwaka guno,” Mwase bwe yanyonnyodde.

Okwawukanako n’omwaka oguwedde, ku mulundi guno bamuyizzitasubwa ba Uganda Kirabo Namutebi ne Tendo Mukalazi bakwetaba mu mpaka zino oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gye baaliko mu Karzan ekya Russia nga gino gye gyabalemesa empaka z’omwaka oguwedde.

Empaka z’obuvanjuba bwa Afirika ezikyasembyeyo zaali mu Uganda omwaka oguwedde ku ssomero lya Kampala International Schools of Uganda e Bukoto nga Uganda yaziwangula.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *