Abawuzi bannayuganda musanvu bebali mu ggwanga lya South Africa okwongera okubangulwa mu bukoddyo bwokuwuga obwenjawulo mu musomo gwa gwa Africa Aquatic Training Camp. Omusomo guno oguwagiddwa ekibiina ekifuga omuzannyo gwokuwuga mu nsi yonna ekya World Aquatic gwakwetabwamu abawuzi abasinga okuba ku mutindo ku lukalo lwa Africa nga gwakukomekerezebwa ku Sande eno. Omusomo guno gwakuyamba bannayuganda
Abawuzi bannayuganda musanvu bebali mu ggwanga lya South Africa okwongera okubangulwa mu bukoddyo bwokuwuga obwenjawulo mu musomo gwa gwa Africa Aquatic Training Camp.
Omusomo guno oguwagiddwa ekibiina ekifuga omuzannyo gwokuwuga mu nsi yonna ekya World Aquatic gwakwetabwamu abawuzi abasinga okuba ku mutindo ku lukalo lwa Africa nga gwakukomekerezebwa ku Sande eno.

Omusomo guno gwakuyamba bannayuganda okubangulwa abatendesi abasangi obulungi ku lukalu lwa Africa wamu nokuvuganya nabawuwuzi abamaanyi mu Africa.
Kubagenze kuliko abawala bana nabalenzi basatu nga ttiimu yakudduumirwa musaayi muto Kirabo Namutebi.
Abawala : Kirabo Namutebi,Karla Mugisha,Swagiah Mubiru ne Tara Kisawuzi
Abalenzi : Ben Kaganda, Rapheal Musoke ne Ampaire Namanya.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *