Abayizi ba Nakasero beefuze eza 2022 Mbogo High School Table Tennis Championship

Abayizi ba Nakasero beefuze eza 2022 Mbogo High School Table Tennis Championship

ESSOMERO lya Nakasero lyefuze ebirabo by’empaka za 2022 Mbogo High School Table Tennis Championship ezimaze ennaku bbiri nga ziyindira ku Mbogo High e Kawempe. Zaakomekkerezeddwa ku wiikendi nga Nakasero ewangudde emitendera musanvu kw’egyo 15 egyavuganyiziddwaako. Basitukidde mu kikopo ky’abatasukka P.3(abalenzi n’abawala), P.5(abalenzi n’abawala), P.7(abalenzi n’abawala) ne Open events (P.1 – S.6 abawala). ESSOMERO lya Nakasero

ESSOMERO lya Nakasero lyefuze ebirabo by’empaka za 2022 Mbogo High School Table Tennis Championship ezimaze ennaku bbiri nga ziyindira ku Mbogo High e Kawempe.

Zaakomekkerezeddwa ku wiikendi nga Nakasero ewangudde emitendera musanvu kw’egyo 15 egyavuganyiziddwaako. Basitukidde mu kikopo ky’abatasukka P.3(abalenzi n’abawala), P.5(abalenzi n’abawala), P.7(abalenzi n’abawala) ne Open events (P.1 – S.6 abawala).

Joseph Ssebatindira musaayimuto wa P.2 ku ssomero lya Nakasero yafuuse ensonga bwe yawangudde emitendera gy’abalenzi esatu okuli; ogw’abatasussa P.3, P.5 ne P7 ku bayizi okuva mu masomero ga pulayimale ataano ageetabye mu z’omulundi guno.

“Neegomba nnyo omuzannyi wa Table Tennis Omumisiri Omar Assar era njagala ng’ende okumala S.4 nga ntunuulira kuzannyira bweru wa Uganda ate nzikiriza kijja kutuukirira kuba omuzannyo ngwagala ate nguwa obudde,” Ssebatindira bwe yategeezezza.

Haji Abdu Noor Ssentamu akulira essomero lya Mgogo College Kawempe abategesi agamba nti empaka zino zizannyibwa buli mwaka okunoonyezaako ebitone, okutunda omuzannyo mu disitulikiti za Uganda ez’enjawulo n’okuzimba ttiimu y’eggwanga kabiriiti.

“Omuzannyo guli nnyo wano mu Kampala, empaka zino zikung’aanya amasomero okuva mu disitulikiti ez’enjawulo, twagala gye bujja Uganda efuuke emu ku mawanga agasinga okuzannya Table Tennis nga tukiika mu mizannyo gya Olympics n’empaka ez’amaanyi,” Ssentamu bwe yategeezezza.

Yasabye abazadde okwagazisa abaana baabwe emizannyo naddala gino egyetaaga okukozesa ennyo obwongo, ate ne Gavumenti okwongera okudduukirira abo abavaayo okulwanirira ebitone by’abaana mu ggwanga.

Guno mulundi gwakusatu ng’empaka zino zitegekebwa, omwaka guno amasomero 13 ge geetabyemu okuli; Nakasero, Mbogo Schools, Kibuli SS, Kawanda SS, St. Micheal International, Standard High Zzana, Nabisunsa Girls, Ubutu High n’amalala.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *