Ono ye muzannyi asinga okuzannya ludo ku ssemazinga wa Afrika ne mu Uganda, ng’era yabadde musaale nnyo nga kiraabu ya Nansana Galaxy esitukira mu kikopo kya Super League ya 2022. … OMUKYALA Beth Nagaddya ateereddwa ku lukalala lw’abazannyi bana abagenda okuvuganya ku ngule y’omuzannyi eyasinga okuzannya ludo mu 2022. Nagaddya okulondebwa kyaddiridde omutindo gwe yayolesa
Ono ye muzannyi asinga okuzannya ludo ku ssemazinga wa Afrika ne mu Uganda, ng’era yabadde musaale nnyo nga kiraabu ya Nansana Galaxy esitukira mu kikopo kya Super League ya 2022. …
OMUKYALA Beth Nagaddya ateereddwa ku lukalala lw’abazannyi bana abagenda okuvuganya ku ngule y’omuzannyi eyasinga okuzannya ludo mu 2022.
Nagaddya okulondebwa kyaddiridde omutindo gwe yayolesa mu mpaka z’ensi yonna eza ‘World Ludo Championship’ omwaka oguwedde ezaali mu Nepal ne Dubai, Uganda gye yawangulira ekikopo kino omulundi gwe yali esoose okukyetabamu. Mu mpaka zino, Uganda teyakubwamu ate Nagaddya ye yawangula engule y’omukazi eyasinga okwolesa omutindo.
Ono ye muzannyi asinga okuzannya ludo ku ssemazinga wa Afrika ne mu Uganda, ng’era yabadde musaale nnyo nga kiraabu ya Nansana Galaxy esitukira mu kikopo kya Super League ya 2022.

Beth Nagaddyaw’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa ludo mu ggwanga ekya Uganda Ludo Federation agamba nti, ‘Buli mwaka tulonda omuzannyi asinze banne mu mpaka ezibeera zitekegeddwa mu Uganda n’ebweru w’eggwanga ng’omuwanguzi gwe tuwaayo mu USPA n’avuganya ku kya munnabyamizannyo gwe balonda abeera asinga’.
Olukalala luno lukolebwa akakiiko ak’ebyekikugu, n’akavunaanyizibwa ku mpaka mu kibiina kino, nga baddiifiri, abatendesi wamu n’abazannyi abalina ebisaanyizo ebibakkiriza okwetaba mu muzannyo guno era baabiggya mu kiibiina kya ludo. Omuwanguzi waakulangirirwa leero.
Olukalala luno kuliko balala basatu; Emmanuel Mubiru eyali ku ttiimu eyawangula World Cup, Huzaifa Matovu kapiteeni wa Uganda Doves nga yayambako kiraabu ya Masaka Giants okumalira mu kyokubiri mu liigi ne Arthur Mubiru eyayambye Nansana Galaxy okuwangula liigi.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *