Abazannyi b’ez’amagombolola bazze n’amanyi.

Abazannyi b’ez’amagombolola bazze n’amanyi.

Kati ziweze wiiki 4 ng’empaka z’amagombolola zizannyibwa ku bisaawe eby’enjawulo n’ekigendererwa ky’okuzuula ebitone ebito okukendeeza ku muwendo gw’abacuba abeetaba mu mpaka z’Amasaza eziwoomera buli omu. Ku mipiira 25 egizannyiddwa wiiki eno, Kawuga mituba IV FC obuwanguzi bwa (1-0) yabuggye magombe oluvannyuma lwa Kawolo FC okugirumba ku kisaawe kyayo ekya Bishops e Mukono n’eginyigira ebitoliro okutuusa

Kati ziweze wiiki 4 ng’empaka z’amagombolola zizannyibwa ku bisaawe eby’enjawulo n’ekigendererwa ky’okuzuula ebitone ebito okukendeeza ku muwendo gw’abacuba abeetaba mu mpaka z’Amasaza eziwoomera buli omu.

Ku mipiira 25 egizannyiddwa wiiki eno, Kawuga mituba IV FC obuwanguzi bwa (1-0) yabuggye magombe oluvannyuma lwa Kawolo FC okugirumba ku kisaawe kyayo ekya Bishops e Mukono n’eginyigira ebitoliro okutuusa mu ddakiika y’e 90 Sadam Nyonga bwe yateebye n’aggya kawuga ku kaguwa.

Minisita w’ebyemizannyo, abavubuka n’ebitone mu bwakabaka bwa Buganda, Robert Sserwanga bwe yabadde aggulawo ez’amagombolola okuva mu Ssaza ly’e Kyaggwe, yasanyukidde ttiimu ezijjumbidde okwetabamu.

Yasabye buli muzannyi okukozesa omukisa guno okulaga ekitone kuba pulojekiti eno yajjiridde bavubuka bato abajjaa okukola ttiimu z’amasaza

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *