EKIBIINA ekitwala ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kiyisizza bajeti ya nsimbi obuwumbi 17 ez’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024. Bajeti eno yayisiddwa mu ttabamiruka w’ekibiina eyatudde ku Route 256 e Lugogo. Okusinziira ku UBF ensimbi zino baakuziggya mu mikutu egyenjawulo okuli obuwumbi 3 eziva mu Gavumenti, basiponsa baayo abakulembeddwa Pepsi ne Sting Energy Drink abasuubirwa
EKIBIINA ekitwala ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kiyisizza bajeti ya nsimbi obuwumbi 17 ez’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024.
Bajeti eno yayisiddwa mu ttabamiruka w’ekibiina eyatudde ku Route 256 e Lugogo.
Okusinziira ku UBF ensimbi zino baakuziggya mu mikutu egyenjawulo okuli obuwumbi 3 eziva mu Gavumenti, basiponsa baayo abakulembeddwa Pepsi ne Sting Energy Drink abasuubirwa okuvaamu ensimbi obuwumbi bubiri n’abalala.
Kuno baakugattako ensimbi obukadde 200,000,000/= ze basuubira okuggya mu kibiina ekitwala ebikonde mu nsi yonna ekya International Boxing Association (IBA).
UBF era yalaze nti yaakukung’aanya obukadde 240 okuva ku kaguwa nga zino ziva mu balabi abagenda okwota empaka zaayo okuli eza UBF Boxing Champions League, National Open, National Intermediates n’endala.
Bammemba okuva mu kiraabu z’ebikonde 57 be beetabye mu ttabamiruka ono eyakubiriziddwa Moses Muhangi, pulezidenti w’ekibiina kino.

Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *