Abeebikonde beepikira liigi ya ggwanga eya UBF Boxing Champions League.

Abeebikonde beepikira liigi ya ggwanga eya UBF Boxing Champions League.

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga UBF Boxing Champions League yaakwetabwaamu abazannyi abasukka mu 300. Abazannyi abenjawulo mu kiraabu okuli; Lukanga Boxing Club, COBAP, UPDF, KCCA, KBC, Police, Namungoona, Sparks, East Coast n’endala bawaga kutandikira mu maanyi n’okukeesa bannaabwe enguumi. Bano mu kiseera kino bali mu kutendekebwa kwa kaasameeme ku jjiimu zaabwe era beesomye okulaga omutindo

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga UBF Boxing Champions League yaakwetabwaamu abazannyi abasukka mu 300.

Abazannyi abenjawulo mu kiraabu okuli; Lukanga Boxing Club, COBAP, UPDF, KCCA, KBC, Police, Namungoona, Sparks, East Coast n’endala bawaga kutandikira mu maanyi n’okukeesa bannaabwe enguumi.

Bano mu kiseera kino bali mu kutendekebwa kwa kaasameeme ku jjiimu zaabwe era beesomye okulaga omutindo omusuffu mu liigi y’omulundi guno.

Liigi ya luno yaakuggyibwako akawuuwo mu MTN Arena e Lugogo olwo eddemu okutambuzibwa mu bifo ebyenjawulo okuli; Club Obligato, Kamwokya Treasure Life Centre, Akmwesi n’ebirala.

Lawrence Kalyango omutendesi wa COBAP ne ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ agamba ku luno aleese ttiimu kabiriiti gy’agamba agyesize okukuba buli kinaabasala mu maaso.

Wabula Twaibu Mayanja owa Lukanga ne Charles Ssmakalu owa Namungoona nabo boogeza maanyi bwe bagambye nti beetegese ekimala teri agenda kubawunyamu.

Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga agamba liigi ku luno eyongeddwaamu ebirungo ebyenjawulo era agisuubira okuba ey’ebbugumu okusinga ku bwe gwabadde sizoni ewedde.

Abazannyi okuli; Ukasha Matovu, Isaac Zebra Ssenyange Jr., Joshua Tukamuhebwa ng’ono kapiteeni wa The Bombers, Derrick Mubiru, Jonah Kyobe, Mike Ssekabembe, Muzamir Ssemuddu n’abalala be bamu ku beesungiddwa mu liigi ya luno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *