Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation nakati kikyatubidde na bbula lya kisaawe abaddusi webaddukira. Ku lwomukaaga oluwedde abemisinde bategese empaka ez’okusunsulamu abaddusi abanaakikirira eggwanga mu mpaka ez’enjawulo wabula nga zino tezajumbiddwa olw’ensonga nti n’abaddusi babadde tebamanyi nakumanya oba nga empaka zino zinabaawo. Okwawukanako n’empaka eziyise zebabadde bategekera munda mu kisaawe e Namboole
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation nakati kikyatubidde na bbula lya kisaawe abaddusi webaddukira.
Ku lwomukaaga oluwedde abemisinde bategese empaka ez’okusunsulamu abaddusi abanaakikirira eggwanga mu mpaka ez’enjawulo wabula nga zino tezajumbiddwa olw’ensonga nti n’abaddusi babadde tebamanyi nakumanya oba nga empaka zino zinabaawo.
Okwawukanako n’empaka eziyise zebabadde bategekera munda mu kisaawe e Namboole ku mulundi guno emisinde bagiddukidde bweru abaddusi webatendekerwa olw’ensonga nti ekisaawe kya Nanboole kiri mukudabirizibwa.

Omwogezi w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga Abdullah Muhammed ategeezeza nti olw’ensonga nti tebalina kisaawe, bano baakusigale nga bakozesa ekisaawe ekiri wabweru e Namboole wadde nga kino kyakwongera okukosa ennyo enteekateeka z’ekibiina ky’emisinde.
“Ekisinga okutukalubiriza kwekuba nga tulina abaddusi abalina okuyitawo okukiika mu mpaka ezenjawulo wabula wano nga mu ggwanga tetulina webagenda kuyitirawo. Nga abaddusi webaddukira wano tukyalina enteekateeka yaffe eyookulaba nga tubatwala ebweru bayitirewo eyo,” Muhammed bwe yategezeza
Empaka ezamanyi abaddusi zebali mukwetegekera kuliko emisinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships egyokubeera mu Budapest ekya Hungary mu July w’omwaka guno.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *