Abadukanya omuzannyo gw’emmotoka z’empaka mu Uganda aba federation of motorsport clubs of Uganda (FMU) bakwatidde wamu n’ekibiina ekiddukanya omuzannyo mu nsi yonna okunoonya ebitone nga bayita mu kutegeka empaka za digito zebayise ‘FIA rally stars’. Zino zigenda kuyindira ku Garden City ku kifo kya Christakis Fitidis ekya ‘X- drive motorsport simulator’ nga anaawangula wakugenda mu
Abadukanya omuzannyo gw’emmotoka z’empaka mu Uganda aba federation of motorsport clubs of Uganda (FMU) bakwatidde wamu n’ekibiina ekiddukanya omuzannyo mu nsi yonna okunoonya ebitone nga bayita mu kutegeka empaka za digito zebayise ‘FIA rally stars’.
Zino zigenda kuyindira ku Garden City ku kifo kya Christakis Fitidis ekya ‘X- drive motorsport simulator’ nga anaawangula wakugenda mu za afrika e South Afrika okuva wakati wa 27-29 mu May gyebanaava okutendekebwa omwaka ogujja balyoke bagende mu z’abato omwaka ogujja 2024 ne 2025 balyoke beetabe mu mu z’ensi yonna mu 2026.
Ssaabawandiisi wa FMU Irene Leila Mayanja agamba, kitusanyudde okwegatta ku pulojekiti eno tulina abavuzi bangi ng’ate bato wabula nga tebalina abakwasizaako, nga kino kigya kubayamba okugenda okwetaba ku mutendera gw’ensi yonna
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *