Ab’okuwuga babanguddwa kugeri yokukozesa tekinologiya.

Ab’okuwuga babanguddwa kugeri yokukozesa tekinologiya.

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation kibangudde abatendesi b’omuzannyo gw’okuwuga ku nkozesa ya tekinologiya. . Omusomo guno guyindidde ku ofiisi z’ekibiina ezisangibwa ku Acacia mall e Kamwokya nga abatendesi 20 be bagwetabyemu. Omuwandiisi w’ekibiina ky’okuwuga Max Kanyerezi ategeezezza nga omusomo guno bwe gwagendereddwamu okusobozesa abatendesi n’abakulembeze bakiraabu okukoseza ebyuma bikalimagezi okubala

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation kibangudde abatendesi b’omuzannyo gw’okuwuga ku nkozesa ya tekinologiya. .

Omusomo guno guyindidde ku ofiisi z’ekibiina ezisangibwa ku Acacia mall e Kamwokya nga abatendesi 20 be bagwetabyemu.

Omuwandiisi w’ekibiina ky’okuwuga Max Kanyerezi ategeezezza nga omusomo guno bwe gwagendereddwamu okusobozesa abatendesi n’abakulembeze bakiraabu okukoseza ebyuma bikalimagezi okubala obudde  abawuzi bwe bawugidde wamu n’okukung’anya obubonero bw’abawuzi mu mpaka ezenjawulo.

” Ebintu kati bikyuse mu nsi yonna, n’olwekyo, naffe tubadde tetuyinza kusigalira mabega. Ensi kati etambulirira ku tekinologiya nga omulembe gw’okuwandiika ku mpapula gwaggwawo dda n’olwekyo naffe kibadde kitwetaagisa okukyusa,” Kanyerezi bwe yategeezezza. 

Abatendesi n’abakulembeze bakiraabu bonna abeetabye mu musomo guno baayise bulungi ne baqweebwa  n’amabaluwa agabasiima okwetaba mu musomo guno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *