Abookubaka batandise kampeyini y’okugula ettaka

Abookubaka batandise kampeyini y’okugula ettaka

Ettaka, abaddukanya ekibiina ky’okubaka, ekya Uganda Netball Federation lye baagala okugula libalirwamu obuwumbi bubiri nga liri mu bitundu bya; Wakiso, Kampala oba Mukono. Ettaka, abaddukanya ekibiina ky’okubaka, ekya Uganda Netball Federation lye baagala okugula libalirwamu obuwumbi bubiri nga liri mu bitundu bya; Wakiso, Kampala oba Mukono. Okutuukiriza kino bano bategese ekijjulo mwe baagala okusondera ensimbi

Ettaka, abaddukanya ekibiina ky’okubaka, ekya Uganda Netball Federation lye baagala okugula libalirwamu obuwumbi bubiri nga liri mu bitundu bya; Wakiso, Kampala oba Mukono.

Ettaka, abaddukanya ekibiina ky’okubaka, ekya Uganda Netball Federation lye baagala okugula libalirwamu obuwumbi bubiri nga liri mu bitundu bya; Wakiso, Kampala oba Mukono.

Okutuukiriza kino bano bategese ekijjulo mwe baagala okusondera ensimbi zino nga April 24, omwaka guno ku Serena Hotel mu Kampala.

Bano batandise okusisinkana abakungu ab’enjawulo okubaperereza okujja ku kijjulo kino nga batandikidde wa minisita ow’ensonga ez’omunda Maj. Gen.Kahinda Otafiire .

Kityo ng’ awerekeddwaako omu ku bayima b’omuzannyo gw’okubaka, Eva Magala batonodde Otafiire engule ng’akabonero akasiima emirimu gy’akoledde ekibiina ky’okubaka.

Engule eno nga emukwasiddwa Eva Magala.

Uganda mu kiseera kino ekwata kifo kyamukaaga mu muzannyo gw’okubaka mu nsi yonna nga Otafiire ategeezeza nti ssaawa eno ekibiina ky’okubaka kye kyandibadde kisinga okufuna ensimbi ennyingi okuva mu kakiiko ka National Council of Sports.

Okuzimba amaka y’emu ku nsonga enkulu Kityo gye yasimbako essira bwe yali alondebwa ku bukulembeze bw’omuzannyo gw’okubaka mu June w’omwaka oguwedde 2021.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *