Abookuwuga babazimbidde ekidiba ekiwugirwamu eky’omulembe.

Abookuwuga babazimbidde ekidiba ekiwugirwamu eky’omulembe.

Abazannyi n’abawagizi b’omuzannyo gw’okuwuga bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa ffamire mu e Buwaate mu ggombolola ye Kira mu Wakiso okuzimba ekidiba ekiwugirwamu eky’omulembe. Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda Swimming Federation (USF), Tony Kasujja yategeezezza nti omuzannyo guno gukyabakaluubiridde okubunyisa mu ggwanga lyonna olw’ebbula ly’ebidiba ebiwugirwamu. “Tusiima abooluganda bano abazimbye ekidiba kya Entine Swimming Pool

Abazannyi n’abawagizi b’omuzannyo gw’okuwuga bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa ffamire mu e Buwaate mu ggombolola ye Kira mu Wakiso okuzimba ekidiba ekiwugirwamu eky’omulembe.

Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda Swimming Federation (USF), Tony Kasujja yategeezezza nti omuzannyo guno gukyabakaluubiridde okubunyisa mu ggwanga lyonna olw’ebbula ly’ebidiba ebiwugirwamu.

“Tusiima abooluganda bano abazimbye ekidiba kya Entine Swimming Pool kuba kigenda kwongera ku kutumbula ebitone mu kitundu ate n’okutegekerawo empaka ezitali zimu,” Kasujja bwe yategeezezza.

Agambye nti ng’oggyeeko amasomero, kiraabu ezibaamu abadigize ziyambye kinene okutumbula okuzimba ebidiba ebiwugirwamu wabula ng’ezisinga zibeera mu bibuga olwo ebitundu ebyeesudde ne bitafuna mukisa.

Wano w’akoonedde ku pulojekiti y’okuzimba ekidiba ky’eggwanga n’agamba nti bakyanoonya ttaka kwe kinaazimbibwa.

Kasujja ayongeddeko nti kaweefube wa USF wa kutandika kutumbula emitendera gy’okuwuga egiwerako omuli okuwuga okwa bulijjo, okw’abasussa emyaka 25 (Master Swimming), Water Polo (omupiira gw’okubakira mu mazzi) n’emitendera emirala.

“Ekibiina ky’ensi yonna ekiddukanya omuzannyo guno kyatusuubiza okuzimba ekidiba ekiri ku mutindo gw’ensi yonna. Tukyanoonya ttaka,” bwe yategeezezza bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku mpaka ezaategekeddwa kiraabu ya Dolphins ku kidiba kya Entine Swimming Pool.

Omu ku ba ffamire eno, Frank Bugembe yategeezezza nti bamaze okukolagana ne kiraabu y’okuwuga eya Sail Fish Swimming Club okufuula ekidiba kya Entine Swimming Pool amaka gaayo mu kaweefube w’okutumbula omuzannyo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *