Alabudde aba Newcastle

Alabudde aba Newcastle

Omutendesi wa Newcastle, Eddie Howe ajjukizza abazannyi be nti omupiira tebazannyira ye wabula nabo gubayamba okwetunda n’okunyweza ebiseera byabwe ku ttiimu. Okwogera bino , yabadde yeetegekera nsiike yaabwe ne Blackburn gye bagenda okuttunka nayo leero ku luzannya lwa ttiimu 16 mu FA Cup. Howe, eyasooka okuwolereza abazannyi be olw’omutindo oguddiridde obusungu yasoose kubufuna ku mupiira

Omutendesi wa Newcastle, Eddie Howe ajjukizza abazannyi be nti omupiira tebazannyira ye wabula nabo gubayamba okwetunda n’okunyweza ebiseera byabwe ku ttiimu. Okwogera bino , yabadde yeetegekera nsiike yaabwe ne Blackburn gye bagenda okuttunka nayo leero ku luzannya lwa ttiimu 16 mu FA Cup. Howe, eyasooka okuwolereza abazannyi be olw’omutindo oguddiridde obusungu yasoose kubufuna ku mupiira Arsenal mwe yabakubidde (4-1) mu Premier. Blackburn  gye bazannya nabo, ekyanoonya wiini esooka wansi wa John Eustace omutendesi waabwe omuggya. Akubiddwa 1 n’amaliri 3. Sizoni ewedde, Blackburn yawandulamu Leicester (eyali eya Premier) ku luzannya luno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *