Mu gy’amasomero e Jinja; JIPRA 3-0 Mpumudde High Wairaka Modern 1-1 Honest Hill Buwenge modern 0-6 JIPRA JIPRA 3-0 Wairaka Modern JIPRA 3-0 Buwenge College Honest Hill 0-1 JIPRA JIPRA 1-0 Busedde College Jinja SS 1-0 Good Heart Jinja SS 3-0 Pilkington college Jinja SS 3-0 Busedde Seed Jinja SS 0-0 Jinja College Masese seed
Mu gy’amasomero e Jinja;
JIPRA 3-0 Mpumudde High
Wairaka Modern 1-1 Honest Hill
Buwenge modern 0-6 JIPRA
JIPRA 3-0 Wairaka Modern
JIPRA 3-0 Buwenge College
Honest Hill 0-1 JIPRA
JIPRA 1-0 Busedde College
Jinja SS 1-0 Good Heart
Jinja SS 3-0 Pilkington college
Jinja SS 3-0 Busedde Seed
Jinja SS 0-0 Jinja College
Masese seed 0-3 Jinja SS
Ekibinja A:
Jinja SS 16 obubonero
Jinja College 12
Ekibinja H:
JIPRA 18 obubonero
Wairaka Modern 11
OLUTALO lw’emipiira gy’okusirisizaawo egy’amasomero ga siniya gyongedde okukwata akati mu bitundu by’e Jinja. JIPRA (Jinja Progressive SS) ne lya Jinja SS zaayiseemu oluvannyuma lw’okuwangula ebibinja mwe zaabadde.
JIPRA yakulembedde ekibinja H, bwe yakukumbye obubonero 18 mu mipiira 6 gye yazannye ate n’emalako nga teteebeddwaamu.

JIPRA yateebye ggoolo 15 n’eddirirwa Wairaka Modern. “Twazannye twegendereza ku mulundi guno era kino kijja kutuyamba okwekkiririzaamu,” Mike Ssebaggala, omutendesi wa JIPRA bwe yagambye oluvannyuma lw’okuyitawo mu mipiira egyazannyiddwa ku kisaawe kya Wairaka College.
Ku kisaawe kya Jinja College, bannantameggwa aba Jinja SS nabo baakulembedde ekibinja A n’obubonero 16. Jinja SS yawangudde emipiira 5 mu kibinja n’eremagana (0-0) n’abategesi aba Jinja College abaamalidde mu kyokubiri n’obubonero 12.
Ku fayinolo y’omwaka oguwedde, Jinja SS yakuba JIPRA (4-3) mu peneti oluvannyuma lwa ttiimu zombi okulemagana (0-0).
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *