Mu Pepsi University Football League. MUBS-SLAU,Nakawa Fred Bakisuula amyuka omutendesi wa St. Lawrence University (SLAU) alabudde abawagizi ba ttiimu ye okwewala effujjo nga bakyalidde MUBS mu nsiike ya semi ey’okudding’ana.Bano balwana kugenda ku fayinolo. Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde mu nsiike eyasooka e Kavule abawagizi ba SLAU baakola effujjo bwe baalumba akatebe ka MUBS ne
Mu Pepsi University Football League.
MUBS-SLAU,Nakawa
Fred Bakisuula amyuka omutendesi wa St. Lawrence University (SLAU) alabudde abawagizi ba ttiimu ye okwewala effujjo nga bakyalidde MUBS mu nsiike ya semi ey’okudding’ana.Bano balwana kugenda ku fayinolo.
Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde mu nsiike eyasooka e Kavule abawagizi ba SLAU baakola effujjo bwe baalumba akatebe ka MUBS ne batandika okubafuuyira vuvuzera mu matu ekyaleetawo akasattiro n’omupiira ne guyimirira okumala eddakiika 5.
SLAU yawangula ensiike eyasooka (2-1) ezaateebebwa Michael Kayongo mu ddakkiika ye 68 ne Bruno Bunyaga mu y’e 78 ate Benjamin Nazar yateebera MUBS.Leero(lwakubiri) badding’anye ku kisaawe kya MUBS e Nakawa nga SLAU enoonya maliri ate MUBs yeetaaga wiini ya ggoolo 2-0
Okudda kwa kapiteeni wa SLAU Umar Kayemba eyasubwa ensiike eyasooka lwa kkaadi eza kyenvu 5,n’omutendesi waabwe Davis Ssozi Nnono naye akomyewo okuva ku kkoligo lya kkaadi emyufu,kino kiyinza okubongera amaanyi okwesogga fayinolo omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa.
MUBS mu mbeera y’emu tegenda kubeera na Moses Kasinga ne James Wagute abalwadde wabula omutendesi Ali Zzinda mugumu nti bagenda kukozesa omukisa gw’awaka okufuna wiini gye beetaaga.
Emipiira gino giragibwa butereevu ku ttivvi za Vision Group okuli;Urban TV,Wan Luo,TV East,Bukedde TV 1 ne 2.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *