Engeri abaakasuse amayinja n’omusulo mu bucupa bwe bakyankalanyizza ebibalo by’omugagga Mandela. Omusulo n’amayinja bibizaalidde kiraabu ya Villa bwe bagiggyeko obubonero bubiri ne ggoolo bbiri,okwo ssaako n’okuzannyira emipiira etaano ku bugenyi. Kino kyaddiridde akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa ,okuwa Villa ekibonerezo ,olw’abawagizi baayo okusiiwuuka empisa bwe baakasukira ddiifiri Rajab Bakasambe amayinja,n’amazzi mu bucupa agaabaddemu omusulo .Abawagizi
Engeri abaakasuse amayinja n’omusulo mu bucupa bwe bakyankalanyizza ebibalo by’omugagga Mandela.
Omusulo n’amayinja bibizaalidde kiraabu ya Villa bwe bagiggyeko obubonero bubiri ne ggoolo bbiri,okwo ssaako n’okuzannyira emipiira etaano ku bugenyi.
Kino kyaddiridde akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa ,okuwa Villa ekibonerezo ,olw’abawagizi baayo okusiiwuuka empisa bwe baakasukira ddiifiri Rajab Bakasambe amayinja,n’amazzi mu bucupa agaabaddemu omusulo .Abawagizi tebaakoma okwo baakuba n’omusawo wa Wakiso Giants.
VILLA BAGIGAANYE OKUDDAMU OKUSAMBIRA MU BUGANDA,MU BUVANJUBA NE KAMPALA;Akakiiko era kaasazeewo nti,Villa emipiira gyayo 5,terina kugizannyira mu Kampala,Buganda oba Buvanjuba,nga balina okufuna ekisaawe mu mambuka,oba mu maserengeta oba bugwanjuba okuzannya emipiira gyayo nga temuli bawagizi.
OBUBONERO OBULALA OBUBIRI BABUNONA; Villa,bagiwadde omwezi mulamba okuleeta abawagizi abaakuba ddiifiri, n’omusawo wa Wakiso Giants amayinja mu kakiiko era singa balemererwa ,bagenda kubaggyako obubonero obulala bubiri.
OMUGAGGA YANDISUULAWO VILLA;Eyaliko ssita wa Villa,Joseph Mutyaba,yategeezezza nti omugagga Omar Mandela,yandisuulawo Villa kubanga ebyali byamugoba mu kirabu eyo,abawagizi ate babizzeemu. Kinajjukirwa nti Mandela,baamuvumira e Nambole nga Villa esamba Iganga n’asuulawo ttiimu era abawagizi abamu bagamba nti waliwo aloga ttiimu yaabwe edde mu bizibu by’okusonda akabbo.Mutyaba,agamba nti omugagga ayinza okwekyanga ng’alaba akola loosi ate ng’ateekamu ssente nnyingi.
VILLA EGENDA KUSAASAANYA OBUKADDE OBUSOBA MU 10;Mutyaba,yagenze mu maaso n’agamba nti ,Villa bagenda kusaasaanya obukadde obusoba mu 10 nga beetegekera olugendo okuzannyira wabweru wa Buganda kubanga birimu okusasula ekisaawe, okusuza abazannyi,n’okubaliisa.
FUFA YABADE KU KITUFFU;Eyaliko ssita wa Villa ,Nestroy Kizito,agamba nti FUFA yabadde ntuufu kubanga tewali tteeka likkiriza bawagizi kukasuka mayinja na musulo.
‘’Nze nnakolako ne Hajji Mandela era yandyabulira Villa Kubanga tayagala bintu birimu buvuyo’’.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *