Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ensero mu ggwanga erya Uganda, kyayanjudde alberto antuna ngaomutendesi omujja owa ttiimu ye ggwanga ey’ensero ey’abakyala eya gazelles. Omutendesi ono awezaemyaka egy’obukulu 31 era nga aviira mu ggwanga erya spain. Obumanyirivu bwe butambulidde nnyoku ggwanga erya Montenegro kwabadde akola nga omumyuka w’omutendesi. Alberto yategeezeza nti ayagala akyuse omuzannyo ttiimu ye ggwanga gwezannya
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ensero mu ggwanga erya Uganda, kyayanjudde alberto antuna nga
omutendesi omujja owa ttiimu ye ggwanga ey’ensero ey’abakyala eya gazelles. Omutendesi ono aweza
emyaka egy’obukulu 31 era nga aviira mu ggwanga erya spain. Obumanyirivu bwe butambulidde nnyo
ku ggwanga erya Montenegro kwabadde akola nga omumyuka w’omutendesi.

Alberto yategeezeza nti ayagala akyuse omuzannyo ttiimu ye ggwanga gwezannya gubeere nga
gunyuma era nga wakuzimba ttiimu eya wano. “omuzannyo ogw’ensero gwegumu mu nsi yonna, wadde
nga olusi ogwa Africa gukyukamu olwamanyi ate nga ogwa bulaaya gusinga kuba gwa bwongo naye
ndowooza tulina okugatta amannyi n’obwongo tuzimbe ekirungi era nzikiriza nti ttiimu yaffe egenda
kuzannya omuzannyo omulungi singa buli omu afuna obwagazi obumala mu kyazannya” byayogeddwa
omutendesi alberto antuna.
Alberto yakwasiddwa eddimu ,ery’okuyambako gazelles okuyitamu okwetaba mu mpaka za afrobasket,
era nga zino zakuyindira mu kibuga kampala mu kizannyiro ekye lugogo omwezi ogujja nga 14-19.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *