Marquinhos ye muzannyi Arsenal gw’esoose okukakansa mu katale kano. Arsenal erangiridde bw’ekansizza omuwuwuttanyi wa Sao Paulo, Marquinhos ku bukadde bwa pawundi busatu. Omuzannyi ono ow’emyaka 19, azannyidde Sao Paulo emipiira 33 era omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta amulinamu essuubi okwongera okusitula ttiimu. Ono ye muzannyi wa Arsenal asoose mu katale kano mu kaweefube gw’eriko okuddamu
Marquinhos ye muzannyi Arsenal gw’esoose okukakansa mu katale kano.
Arsenal erangiridde bw’ekansizza omuwuwuttanyi wa Sao Paulo, Marquinhos ku bukadde bwa pawundi busatu. Omuzannyi ono ow’emyaka 19, azannyidde Sao Paulo emipiira 33 era omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta amulinamu essuubi okwongera okusitula ttiimu. Ono ye muzannyi wa Arsenal asoose mu katale kano mu kaweefube gw’eriko okuddamu okuwangula ebikopo.
Kigambibwa nti omuzannyi ono yali waakuweerebwa ku bbanja ayongere okufuna obumanyirivu naye olw’ekitone kye, Arteta yandisalawo okumusigaza. Endagaano ya Marquinhos gye yassaako omukono mu 2019 mu Sao Paulo ebadde eggwaako mu 2024 kyokka olw’okuba yagissaako omukono nga tannaweza myaka 18, FIFA yagisazaamu n’egifuula ya myaka ebiri.
Kino kyawadde Arsenal omukisa okumukakansa. Wabaddewo n’ebigambibwa nti Wolves ne Atletico Madrid ey’e Spain zaabadde zaagala omuzannyi y’omu era nga zaagala kuwaaba olw’omuzannyi ono okugenda mu Arsenal sso nga ze zaasooka okumwogereza, wabula olw’okuba tewaali bujulizi bwa nkukunanala nti zaamwogereza, Arsenal kye yavudde emukansa.
Mu bazannyi abalala Arsenal b’etunuulidde kuliko; Gabriel Jesus owa Man City, Youri Tielemans b’eyagala okwongera mu ttiimu eggumire.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *