Arsenal eyanjudde ggoolokipa omupya.

Arsenal eyanjudde ggoolokipa omupya.

Arsenal erangiridde bw’ekakasiza ggoolokipa Matt Turner okuva mu New England Revolution eya Amerika. Ono yaguliddwa obukadde bwa pawundi 5.75 nga ddiiru eno yasonjolwa mu February w’omwaka guno kyokka n’asigalayo amaleko sizoni. Baamuwadde endagaano ya myaka 5 nga waakwambala omujoozi nnamba 30. Omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta yagambye nti omumerika ono azaalibwa mu kibuga New Jersey.

Arsenal erangiridde bw’ekakasiza ggoolokipa Matt Turner okuva mu New England Revolution eya Amerika. Ono yaguliddwa obukadde bwa pawundi 5.75 nga ddiiru eno yasonjolwa mu February w’omwaka guno kyokka n’asigalayo amaleko sizoni.

Baamuwadde endagaano ya myaka 5 nga waakwambala omujoozi nnamba 30. Omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta yagambye nti omumerika ono azaalibwa mu kibuga New Jersey.

Waakwongera okuvuganya ku ggoolokipa Aaron Ramsey asookamu mu ggoolo.Turner yawangulira Amerika ekikopo kya CONCACAF mu 2021 era okujja kwe kwandiviirako ggoolokipa Bernd Leno okwabulira Arsenal.

Arsenal asuubirwa okutandika okutendekebwa essaawa yonna nga beetegekera emipiira gy’okwegezaamu.Nga july 8,baakwambalaga ne Nurnber eya Girimaani mu kaweefube waabwe okwetegelera sizon ejja mwe baggulirawo ne Crystal Palace nga August 5.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *