Arsenal efunye ekkonde mu kaweefube waayo ow’okukansa omuteebi wa Barcelona, Memphis Depay. Omuzannyi ono y’omu ku kw’abo omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta b’ayagala okuleeta mu ttiimu aggumize ekyoto era bakama be baabadde bakkirizza okumuwa ssente ezimuleeta. Wabula obuzibu we bujjidde bwa kuba nti abakungu ba Barcelona bakyetemyemu ku ky’omutunda. Abakungu ab’oku ntikko baagala kuta eyaliko
Arsenal efunye ekkonde mu kaweefube waayo ow’okukansa omuteebi wa Barcelona, Memphis Depay. Omuzannyi ono y’omu ku kw’abo omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta b’ayagala okuleeta mu ttiimu aggumize ekyoto era bakama be baabadde bakkirizza okumuwa ssente ezimuleeta.
Wabula obuzibu we bujjidde bwa kuba nti abakungu ba Barcelona bakyetemyemu ku ky’omutunda. Abakungu ab’oku ntikko baagala kuta eyaliko ssita wa ManU ono nga bagamba nti ssente ze basasula mu misaala nnyingi.
Xavi ayagala okugulayo abazannyi abalala abasobola okutwala ttiimu eno mu maaso wabula abakulu ab’oku ntikko bagamba nti okufuna ssente ezinaasasula emisaala gy’abazannyi Xavi b’ayagala, balina kusooka kutunda be balinawo. Depay wano we yabadde asongereddwaamu olunwe okuvaawo kyokka wazzeewo okusika omuguwa ng’abamu ku bakungu ba Barca baagala omuzannyi ono asigale.
Ensonda endala zaategeezezza nti Xavi ayagala Depay asigale era ayagala kumuwa ndagaano mpya. Kino kyandimalawo essuubi lya Arsenal okufuna omuzannyi ono sso nga kigambibwa nti ne Juventus ebadde eyagala omuzannyi y’omu.
“Najja mu Barcelona kuzannyira ttiimu eno n’omutima gwange gwonna. Nneetaaga okuwaayo omutima gwange gwonna nkole ekyandeeta,” Depay bwe yategeeza gye buvuddeko. Endagaano ya Depay eggwaako ku nkomerero ya sizoni ejja.
Oluvannyuma lwa Pierre Aubameyang okuva mu Arsenal mu katale ka January, Arsenal esanze obuzibu mu kuteeba, ekimu ku byagiremesezza okwesogga Champions League. Arsenal eri ku muyiggo gwa bazannyi abasobola okufuna ggoolo naddala nga bagenda kuzannya mu Europa sizoni ejja. Ng’oggyeeko ekyo, Arteta ayigga abazannyi abalina obumanyirivu abanaasobola okuyamba ttiimu okuwangula emipiira mu mpaka ez’enjawulo sizoni ejja.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *