Abakulira esomero lya Mukono Kings High school bananttamegwa b’omupiira gw’amasomero e Mukono ne region ya greater Mukono, bakukulumide abakulembeze ba district ye Mukono okubalekerela ate nga be bakwatide district ya mukono bendera mu district ya Arua mu mpaka z’amasomero. Bino babyogeredde ku kabaga akayozayoza abayizi bano okuwangula ebikopo ebibiri wamu n’okusibula abayizi bano mu butongole
Abakulira esomero lya Mukono Kings High school bananttamegwa b’omupiira gw’amasomero e Mukono ne region ya greater Mukono, bakukulumide abakulembeze ba district ye Mukono okubalekerela ate nga be bakwatide district ya mukono bendera mu district ya Arua mu mpaka z’amasomero.
Bino babyogeredde ku kabaga akayozayoza abayizi bano okuwangula ebikopo ebibiri wamu n’okusibula abayizi bano mu butongole okugenda okwetaba mu mpaka z’amasomero mu kibuga Arua.
Mukono Kings okuwangula ebikopo ebibiri yamala kuwangula Kasawo ss mu za district, oluvanyuma n’ekuba Kayunga light ss mu gya regional olwo nefuuka nantamegwa, era wano kapitteni wa tiimu ya Mukono Kings wasinzide naggumya bane nga bwe bagenda okuwangula newankubade tebayina bumanyirivu mu mpaka zino.
Omutendesi wa we somero lino Shafiq Mudoola agamba tiimu ye bagitesetese bulungi, kubanga obudde webuli n’olwekyo era bagenda kutekawo okuvuganya okw’amanyi newankubade alinamu omuzanyo omu eyali azanye ku za national.
Teddy Gloria Kasumba akulira esomero lino akikide ensingo abakulu abatwaala district ye Mukono okuli akulira eby’enjiriza, omubaka wa Mukono municipality ne Sentebe wa district ya Mukono obutabaako kye bawagira mu by’ensimbi ate nga bakikilide district nga n’omukolo ogusibula abasambi bano tebalabiseeko.
“Tufubye okubawandikira mu budde nga abakulembeze abatutwaala nga tubayita ku mukolo guno basibule abaana okugenda wabula tewali alabiseeko, nobuwagizi bwensimbi nabwo buganye yadde e box yamazzi eri abaana bano” Teddy bwagambye
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *