Kiraabu ya UgX Luwero ezanyira mu liigi y’eggwanga eya babinywera ey’okubaka eya Uganda Netball Super League egobeddwa mu liigi eno lwa kulemwa kuzannya mipiira gya liigi 3. Okusinziira ku ssentebe wakakiiko akategeka liigi y’eggwanga Micheal Kakande, kiraabu singa eremererwa okuzannya emipiira esatu mu liigi, egobwa mu liigi era bwe kityo bwe kyabadde ku Luweero. Luwero
Kiraabu ya UgX Luwero ezanyira mu liigi y’eggwanga eya babinywera ey’okubaka eya Uganda Netball Super League egobeddwa mu liigi eno lwa kulemwa kuzannya mipiira gya liigi 3.
Okusinziira ku ssentebe wakakiiko akategeka liigi y’eggwanga Micheal Kakande, kiraabu singa eremererwa okuzannya emipiira esatu mu liigi, egobwa mu liigi era bwe kityo bwe kyabadde ku Luweero.

Luwero yalemwa okuzannya emipiira ebiri mu laawundi eyasooka ekitegeeza nti yali esigazzaayo omupiira gumu. Nga laawundi eyookubiri etandika, Luweero yabadde erina okuzannya emipiira ebiri okuli; ogwa Prisons ne Police wabula n’eterabikako era yabadde erina okukangavvulwa olw’okumenya amateeka.
“Eky’okuvaamu kya Luwero kyatutaataaganyizza nnyo era tulina okuddamu okutunula mu nsengeka y’emizannyo okulaba nga tukola enkyukakyuka mu mipiira ekintu ekitukoze obubi,” Kakande bwe yannyonnyodde.
Ku ntandikwa ya liigi eno, ekibiina ekiddukanya okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kyalinnyisa ensimbi ezisasulwa kiraabu ezizannya mu liigi okuva ku mitwalo 50 okutuuka ku bukadde bubiri n’ekitundu kw’ossa obukadde 5.
Ugx Luweero emu kw’ezo ezibadde zeemulugunya ku ssente ezisasulwa nti nnyingi.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *