Ekibinja kya bamusaayimuto 12 bagenze mu ggwanga lya Budaaki okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna ez’abali wansi w’emyaka 16 eza Under 16 Youth Olympiad World Championships. Zino ziri ku ddaala lya nsi yonna era nga Uganda ezeetabyemu omulundi ogusoose. Zaakuzannyirwa mu kibuga Endohaven mu Budaaki wakati wa August 12-19. Bano kuliko abalenzi munaana n’abawala bana
Ekibinja kya bamusaayimuto 12 bagenze mu ggwanga lya Budaaki okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna ez’abali wansi w’emyaka 16 eza Under 16 Youth Olympiad World Championships.
Zino ziri ku ddaala lya nsi yonna era nga Uganda ezeetabyemu omulundi ogusoose.
Zaakuzannyirwa mu kibuga Endohaven mu Budaaki wakati wa August 12-19.

Bano kuliko abalenzi munaana n’abawala bana nga kikulembeddwa omutendesi Walter Okas era agenda okukola nga kapiteeni (atali muzannyi).
Bagenze bawera okuwanirira bbendera ya Uganda ng’okugenda ku lukalala baasoose kutuukiriza bisaanyizo mu mpaka ezaategekebwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation (UCF) ezaali mu February omwaka guno ku ofiisi z’ekibiina kino e Namugongo.
Omumyuka w’ekibiina kya UCF, Isaac Otim ategeezezza nti ono kaweefube ow’okuyingiza abazannyi bamusaayimuto mu mpaka eziri ku mutiindo gw’ensi yonna baakugenda naye mu maaso kubanga bangi abawa essuubi okutuuka mu madaala aga waggulu mu muzannyo guno.

“Twagala batuuke ku madaala okuli FIDE Master ne Grand Master kubanga balina ekitone,” Otimu bwe yategeezezza.
Abazannyi kuliko; Ssubi Kiwanuka, Edwin Pido, Nygaard Ajiri, Daniel Dokoria, Ethan Kiggundu, Arthur Mwase, Ethan Mwase ne Hailey Mitchele Nio ate ng’abawala ye Zuri Tatiana, Shiloh Tandeka, Nakasi Kiwanuka ne Caroline Nabirye.
Abamu ku bazadde baabwe babaddewo okubasiibula e Lugogo ku kitebe kya NCS.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *