Bannayuganda batabukidde bannakenya mu za ARC Equator.

Bannayuganda batabukidde bannakenya mu za ARC Equator.

Ab’emmotoka z’empaka 20 baswakidde okusuuza munnakenya Karan Patel eza ARC Equator rally ze yawangula sizoni ewedde (2022) bwe yeefuga siteegi ttaano ku 8 ezaavugibwa n’aleka banne nga bamunyeenyeza mutwe ng’embuzi etenda enkuba. Patel yavugira essaawa (2:26:55.4) okutolontoka olugendo lwa kkiromita (433.43) n’addirirwa musaayimuto Jeremy Wahome (2:29:56.0) n’abalala. Eggulo mmotoka zonna zaakebereddwa n’okwetaba mu kanyomero ka

Ab’emmotoka z’empaka 20 baswakidde okusuuza munnakenya Karan Patel eza ARC Equator rally ze yawangula sizoni ewedde (2022) bwe yeefuga siteegi ttaano ku 8 ezaavugibwa n’aleka banne nga bamunyeenyeza mutwe ng’embuzi etenda enkuba.

Patel yavugira essaawa (2:26:55.4) okutolontoka olugendo lwa kkiromita (433.43) n’addirirwa musaayimuto Jeremy Wahome (2:29:56.0) n’abalala.

Eggulo mmotoka zonna zaakebereddwa n’okwetaba mu kanyomero ka kiromitta 5.48 okusunsula ebifo buli emu mw’egenda (Shakedown). Omugatte zaakutolontoka kiromitta 421.08 nga 205.25 ze zivuganyizibwako.

Eza ARC Equator rally 2023 zaatandise eggulo (Lwakutaano) nga zikomekkerezebwa ku Ssande. Ziyindira mu Ssaza lya Voi-Taita-Taveta mu kibuga Nairobi ekya Kenya nga zaakutolontoka omugatte gwa kiromitta 421.08 wabula 205.25 ze zivuganyizibwako.

Zino mpaka za mulundi gwakubiri ku kalenda ya Afrika oluvannyuma lwa Bandama Ganda rally eyaliwo wakati wa (February 24 – 26, 2023) mu kibuga Yamoussoukro ekya Ivory Coast.

Uganda ekiikiriddwa Jas Mangat ne Yassin Nasser mu mpaka zino nga balwana okutandika n’obubonero obwegasa ku kalenda ya Afrika omwaka guno oluvannyuma lw’okusubwa ez’e Ivory Coast ezaagguddewo sizoni.

Mangat mu Mitsubish Evo X agamba nti omwaka guno amaanyi agenda kugateeka ku ngule ya Afrika okusinga ey’awaka, ku mpaka 7 atunuulidde ennyo 6 okuli; eno ey’e Kenya, Pearl (Uganda), ey’e Rwanda, Tanzania ne Burundi ne

Zambia ssinga ssente zinaabasobozesa.

Nasser mu kapyata ya Ford Fiesta R5 MK2 yavuze eza Machakos rally 2023 ezagguddewo kalenda y’e Kenya n’amalira mu kyakuna, Mbarara City Rally ezaagguddewo kalenda y’eggwanga ye yaziwangudde n’ezaakafubutuko ezaggulawo omwaka e Busiika nazo yazeetikka era waakuzimbira ku zino okumalira mu bifo ebisava e Kenya.

h Charles Muhangi ye munnayuganda yekka eyali awanguddeko ku ngule ya ARC mu 1999, ssinga Nasser ne Mangat beerwanako, basobola nabo okuteekawo ekyafaayo kino omwaka guno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *