Richard Basangwa abadde azannyira mu Gadaffi FC ku bbanja ng’ava mu Vipers yeegasse ku Bannayuganda abazannyira mu liigi y’e Misiri. Yeegasse ku Wadi Degla Sporting Club ezannyira mu kibinja kyokubiri e Misiri nga yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu. Vipers bakyampiyoni ba liigi ya Star Times Uganda Premier League,baatadde obubaka obusiibula ku mukutu gwa
Richard Basangwa abadde azannyira mu Gadaffi FC ku bbanja ng’ava mu Vipers yeegasse ku Bannayuganda abazannyira mu liigi y’e Misiri.
Yeegasse ku Wadi Degla Sporting Club ezannyira mu kibinja kyokubiri e Misiri nga yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu.
Vipers bakyampiyoni ba liigi ya Star Times Uganda Premier League,baatadde obubaka obusiibula ku mukutu gwa twitter nga baagaliza Basangwa ebirungi ku lugendo lwe olupya lw’atandiseeko.
Basangwa yeegasse ku Allan Kyambadde eyagenze mu El Dakhleya,Gavin Kizito Mugweri eyeegasse ku Al lttihad Alexandria ku ntandikwa ya wiiki eno ne Joseph Ochaya ali mu Arab Contractors ng’ono yavudde mu TP Mazembe eya DR Congo.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *