Bassita  mu kudduka Kiplimo ,Cheptegei ne Nakaayi bawaga kusitukira mu misinde gya Prefontaine Classics.

Bassita  mu kudduka Kiplimo ,Cheptegei ne Nakaayi bawaga kusitukira mu misinde gya Prefontaine Classics.

Bassita ba Uganda mu kudduka Joshua Cheptegei, Jacob Kiplimo ne Halima Nakaayi bawaga kusitukira mu misinde gya Prefontaine Classics egigenda okubumbujjira mu Amerika wiikendi eno. Emisinde gino giddukibwa ku Lw’omukaaga luno May 27 ne Ssande May nga 29 mu Kibuga Oregon mu Amerika. Cheptegei eyawangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Olympics mu mita

Bassita ba Uganda mu kudduka Joshua Cheptegei, Jacob Kiplimo ne Halima Nakaayi bawaga kusitukira mu misinde gya Prefontaine Classics egigenda okubumbujjira mu Amerika wiikendi eno.

Emisinde gino giddukibwa ku Lw’omukaaga luno May 27 ne Ssande May nga 29 mu Kibuga Oregon mu Amerika.

Cheptegei eyawangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Olympics mu mita 5000 ne feeza mu mita 10000 waakuttunka mu mmita 5,000 ku Lwomukaaga mwaluubiridde okumenya likodi y’ensi yonna mu misinde gino gye yeeterawo mu 2020 ey’eddakiika 12:35.36.

Kiplimo waakuttunka mu mmita 10,000 ku Ssande mw’agenda okwabikira ne bassita okuli; Selemon Barega, Berihu Aregawi ne Ahmed Mo.

Bano baakwegatibwaako Halima Nakaayi kyampiyoni w’ensi yonna mu mita 800 agenda okuttunka mu misinde gye gimu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *