Batadde ssente mu mpaka za AFCON

Batadde ssente mu mpaka za AFCON

KKAMPUNI ya APSONIC bakafulu mu kukola pikipiki mu Afrika basse omukago n’ekibiina ekitwala omupiira mu Afrika ekya CAF ng’abamu ku basiponsa b’empaka za Afrika ez’omwaka ogujja. Empaka zino ezinaabeera mu ggwanga lya Ivory Coast wakati wa January 13- February 11, zisuubirwa okulabwa abantu abasoba mu kawumbi akalamba okwetooloola ensi yonna era kkampuni ya APSONIC eyagala

KKAMPUNI ya APSONIC bakafulu mu kukola pikipiki mu Afrika basse omukago n’ekibiina ekitwala omupiira mu Afrika ekya CAF ng’abamu ku basiponsa b’empaka za Afrika ez’omwaka ogujja.

Empaka zino ezinaabeera mu ggwanga lya Ivory Coast wakati wa January 13- February 11, zisuubirwa okulabwa abantu abasoba mu kawumbi akalamba okwetooloola ensi yonna era kkampuni ya APSONIC eyagala bonna banyumirwe omupiira gwa Afrika nga balaba ttalanta ez’enjawulo eziva ku ssemazinga wa Afrika.

Olw’okuba nti okuzannya oba okuguwagira ne ddigi mu kiseera kino kizibu okubyawula eno y’ensonga lwaki aba kkampuni ya APSONIC beesowoddeyo okussa ssente mu mpaka za Afrika ez’omwaka ogujja. Ezimu ku ttiimu ezigenda okwetaba mu AFCON omwaka ogujja kuliko; Misiri, Algeria, Moroco, Nigeria, Tanzania, Ghana n’amawanga amalala.

APSONIC egatta aba ddigi n’aboomupiira;

Kkampuni eno yaakamala emyaka egisoba mu 20 ng’ekola pikipiki eziri ku mutindo, era ng’eri mu mawanga ga Afrika agali eyo 20. Eyagala bannansi ku ssemazinga wa Afrika banyumire omupiira nga bwe beeyagalira ne ku ddigi era APSONIC yeeyama okwongera amaanyi mu okubaweereza mu ngeri ez’enjawulo ng’ebatuusaako pikipiki eziri ku mutindo ogusinga okuba ogwa waggulu.

Nga ttiimu z’omupiira bwe zirwana buli kaseera okulaba nga ziyiiya engeri y’okuwangulamu emipiira nga zigula abazannyi abaziggumiza, kkampuni ya APSONIC nayo erwana okulaba nga buli kadde erinnyisa omutindo gwa pipiki zaayo ng’eyita mu kutambulira awamu tekinologiya ali ku mulembe.

Ezimu ku pikipiki ze bakola kuliko ezitambuza abantu (boda boda) ne tukutuku n’ez’emigugu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *