Bazzukulu ba Kayita abedira  Envubu bagyaganya.

Bazzukulu ba Kayita abedira  Envubu bagyaganya.

Wiiki ewedde, Omutima Omusagi gwakuba Envubu (2- 0) wabula ab’Envubu tebaali bamativu nga bagamba ab’Omutima baakozesa omuzannyi eyeeyita Emmanuel Jjakira kyoka nga ye Emmanuel Kayita. Bazzukulu ba Kayita abedira  Envubu bagyaganya oluvannyuma lw’omutima Omusagi  okuwanduka mu mpaka z’emipiira gy’Ebika by’Abaganda. Abenvubu baawaba omusango guno mu kakiiko akaddukanya empaka zino wabula bwe gwali gusalibwa,Kyajjulwa nti Envubu

Wiiki ewedde, Omutima Omusagi gwakuba Envubu (2- 0) wabula ab’Envubu tebaali bamativu nga bagamba ab’Omutima baakozesa omuzannyi eyeeyita Emmanuel Jjakira kyoka nga ye Emmanuel Kayita.

Bazzukulu ba Kayita abedira  Envubu bagyaganya oluvannyuma lw’omutima Omusagi  okuwanduka mu mpaka z’emipiira gy’Ebika by’Abaganda.

Abenvubu baawaba omusango guno mu kakiiko akaddukanya empaka zino wabula bwe gwali gusalibwa,Kyajjulwa nti Envubu yaleeta layisinsi gye yayita eya Jjakira nga teriiko sitampu na mukono gwa muwandiisi wa lukiiko olwavaako obujulizi era Omutima omusagi ne ggugyibwako omusango.

Wabula omutima omusagi wadde gwawangula omusango guno, tegwasobodde kuyita ku luzannya lwa ttiimu 32, bazzukulu ba Walusimbi, Abeffumbe bwe baabakubye ggoolo 5 – 0 ku kisaawe kya Kawanda SS.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *