Benzema alangiridde nga bwanyuse okuzannyira France.

Benzema alangiridde nga bwanyuse okuzannyira France.

Nakinku mu kucanga endiba ku mutendera gw’ensi omuteebi Karim Mostafa Benzema, mu butongole alangiridde nti annyuse okuzannyira France endiba. Karim Benzema myaka 35  egy’obukulu era NGA azannyira club ya Real Madrid eya Spain, obubaka bw’okunyuka buno abuyisizza ku mikutu gye emigatta bantu. Alese azannyidde France emipiira 97 mwatebedde goolo 37 wakati wa 2007 ne 2022.

Nakinku mu kucanga endiba ku mutendera gw’ensi omuteebi Karim Mostafa Benzema, mu butongole alangiridde nti annyuse okuzannyira France endiba.

Karim Benzema myaka 35  egy’obukulu era NGA azannyira club ya Real Madrid eya Spain, obubaka bw’okunyuka buno abuyisizza ku mikutu gye emigatta bantu.

Alese azannyidde France emipiira 97 mwatebedde goolo 37 wakati wa 2007 ne 2022.

Karim Benzema abadde omu ku bazannyi 26 omutendesi wa France, Didier Deschamps, beyayita okuzannya mu mpaka za FIFA World Cup ezabadde e Qatar, kyokka teyazannyeyo mupiira gwonna olw’obuvune.

Karim Benzema yamala ebbanga erikunukkiriza mu myaka 6 nga tazannyira France olw’obutakwagana obwaliwo ne muzannyi munne Mathieu Valbuena, era yaddamu okuzannyira France mu mpaka za Euro 2020.

Karim Benzema yalondeddwa ng’omuzannyi asinze okucanga endiba omwaka guno 2022 era nawebwa engule eya Ballon d’Or.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *