Omutendesi wa Viper SC, Roberto Bianchi alina essuubi nti ttiimu ye yaakuva mu kibinja mu mpaka za CAF Champions League wadde nga tebannawangulayo mupiira oba okuteebayo ggoolo mu mipiira ebiri gye baakazannya. Vipers yalemaganye ne Horoya eya Guinea (0-0) ku Lwomukaaga e Kitende ne bafuna akabonero akasooka mu kibinja kino. Bianchi yategeezezza nti obutabeera na
Omutendesi wa Viper SC, Roberto Bianchi alina essuubi nti ttiimu ye yaakuva mu kibinja mu mpaka za CAF Champions League wadde nga tebannawangulayo mupiira oba okuteebayo ggoolo mu mipiira ebiri gye baakazannya. Vipers yalemaganye ne Horoya eya Guinea (0-0) ku Lwomukaaga e Kitende ne bafuna akabonero akasooka mu kibinja kino.
Bianchi yategeezezza nti obutabeera na bateebi ba ntomo kye kimu ku bimulemesezza okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okufuna obuwanguzi ku Horoya.

“Abateebi bakyetaaga okuwawula. Kino kye ng’enda okwesibako nga tetunnasamba Simba FC eya Tanzania ku Lwomukaaga. N’omusambi wange Isa Mubiru okuweebwa kaadi emmyuufu mu ddakiika y’e 78 kyatukosezza nnyo naye ebyo tugenda kubinogera eddagala mu mipiira egiddako,” Bianchi bwe yategeezezza.
Leero ku Lwokubiri, Vipers yaakukyaza Wakiso Giants mu gwa StarTimes Uganda Premier League, omupiira Bianchi gw’ayagala abazannyi be okulagirako nti bategedde by’abatendeka. Mu gwasooka mu za CAF Champions League, Vipers yawuttulwa Raja Casablanca eya Morocco (5-0).
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *